Poliisi ekutte omusajja Ajibola Akindele myaka 30 ku misango gy’okusobya ku muwala myaka 20 mu kkanisa munda mu ssaza lya Ogun mu ggwanga lya Nigeria.
Okusinzira kw’alipoota ya Poliisi, nga 16, omwezi guno Ogwokuna, 2022, maama yasindika muwala we okutimba ekkanisa, nga balinze okusaba kw’enkya ku Ssande nga 17, Ogwokuna, 2022.
Ku kkanisa, begatibwako abakyala abalala nga bazze okulongoosa ekkanisa munda wabula nga wayise eddakika 40, abakyala bonna bagenda, omuwala kwe kusigala mu kkanisa n’omusajja Akindele eyamutwalako nga bakyali mu kutimba.
Mu ddakika ezo, omusajja yaggalawo emirwango gye kkanisa, kwe kusembera katuuti, omuwala bwe yali akyatimba era bwatyo namusobyako nga yakikolera mu ntebe katuuti.
Omuwala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yali akyali mberera, omusajja kwe kumusuubiza okumutta singa akuba enduulu era bwe yamala okumusobyako, yaddamu okumusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Omuwala, yategeeza ku nnyina nga wayise eddakika 20 era amangu ddala, Poliisi yategezebwako kyokka okuva olwo, Akindele abadde aliira ku nsiko.
Wabula omuddumizi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Abimbola Oyeyemin agamba nti Akindele akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku muntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Mungeri y’emu agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu okwewala okutwalira amateeka mu ngalo nga basanyawo ennyumba y’omusajja.
Ku Poliisi, omusajja ono Akindele akkiriza emisango gy’okusobya ku mwana omuwala kwe kutegeeza nti sitaani, yali amulinye nga byonna bye yakola, teyali mu mbeera ze.
Ate Gavumenti mu ggwanga erya South Africa, efulumizza alipoota ku bantu abafudde nga kivudde ku mataba mu ssaza lye KwaZulu-Natal wiiki ewedde.
Alipoota eraga nti abantu abafudde nga kivudde ku mataba, bavudde 448 okudda ku 435.
Alipoota eraga nti abantu 4 abazuuliddwa nga bafu, battiddwa ate abantu 9 bafudde endwadde eza buligyo nga kigambibwa kyavudde mu kutya okwabaddewo.

Wadde kigambibwa abantu abasukka 40 bakyabuze, Poliisi n’amaggye, bakyagenda mu maaso n’okunoonya.
Gavumenti eri mu ntekateeka z’okuddamu okuzimba, enguudo, entindo, okuzimbira abantu amayumba ssaako n’okuzaawo amasomero agasigadde ku ttaka.
Mu kiseera kino, bangi ku batuuze abakozeddwa bafunye okuyambibwa omuli okuweebwa emmere, tenti okwebaka, ssaako n’okufuna ebyokwambala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CcB9Lk6cXuU&t=620s