Amaggye gawakanyiza ebigambo ebyayogeddwa munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) omukyala Alexandria Marinos nti yawambibwa amaggye g’ekitongole ekikessi ekya CMI ne gamutulugunya ssaako n’okumusobyako.

Marinos nga mutuuze we Mbuya wakati mu kulukusa amaziga, bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya, yagambye nti mu kusooka yawambibwa abantu abaali mu ngoye eza buligyo.

Marinos myaka 29, yagambye nti abasajja bamuggya mu nnyumba ye, nga 30, March, 2022 ku ssaawa 6 ez’ekiro okutwalibwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Agamba nti mu kutwalibwa, yabuuzibwa ebibuuzo eby’enjawulo omuli Pulaani ya Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, lwaki ayagala nnyo ennyimba za Bobi Wine, ssaako n’okubuuzibwa ku byogerwa nti mutabani wa Bobi Wine,  Solomon Kampala y’omu ku baana abegumbulidde okunywa enjaga.

Marinos agamba nti abantu abaamuwamba okulaga nti balina omutima ogw’ekitujju, baamusibira mu kiyumba ekiro ne bamutimpula emiggo oluvanyuma omu ku basajja yamusobyako, nga tewali wadde kusasira kwonna, wabula okutabaala ebyalo, okutuusa bwe yatuuka mu bwengula.

Mu bigambo bya Marinos, yanokoddeyo, Sgt Ali Hassan Matovu ne Erias Ssengoba nga ye muntu wa buligyo, okwenyigira mu ntekateeka z’okumuwamba n’okumusobyako.

Wabula omwogezi w’amaggye ga Uganda Peoples Defence Forces (UPDF) Brig. Felix Kulayigye awakanyizza ebyayogeddwa Marinos era agamba nti byonna bya bulimba.

Kulayigye

ku lwa amaggye, Kulayigye agamba nti balina bwiino alaga nti ku lunnaku Marinos lw’agamba nti yawambibwa, yalumalako ng’ali ku ssimu ne mikwano gye.

Eddoboozi lya Kulayigye

Mungeri y’emu agamba nti, abantu baalumiriza Sgt Ali Hassan Matovu ne Ssengoba, baludde nga mikwano gye.

Kulayigye ng’ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’amaggye e Mbuya, Sgt Ali Hassan Matovu ne Ssengoba bonna bavuddeyo okwewozaako, ku bigambo ebyayogeddwa Marinos.

Ssengoba naye agamba nti yewunyiza omukyala abadde mukwano gwe Marinos, okudda mu kutambuza ebigambo eby’obulimba n’okumusiiga erinnya enziro.

Ssengoba agamba nti ye musajja mufumbo, alina abaana, nga kiswaza Marinos abadde mukwano gwe, okudda mu kutambuza ebigambo.

Wadde amaggye gavuddeyo ne Ssengoba okwewozaako, abakyala mu kibiina ki NUP nga bakulembeddwamu omubaka wa Monicipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke bagamba nti ensonga bazitwala wa sipiika wa Palamenti Anita Among nga bagamba nti bakooye ejjoogo ly’ebitongole ebikuuma ddembe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gr2pGlbDBFk