Poliisi y’e Nansana ekoze ekikwekweeto ku bantu abagambibwa okweyambisa amassimu okubba abantu nga bayita ku mitimbagano mu bitundu bye Kibulooka, Nansana West 2A.

Mu kikwekweeto, Poliisi ekutte abantu mwenda (9) n’amassimu agateeberezebwa okuba nga mabbe.

Ebizibiti ebizuuliddwa kuliko amassimu 24, Kompyuta ekika kya laptop egambibwa okweyambisibwa mu kubba abantu.

Abakwate

Ebintu ebirala kuliko endagaano z’ettaka, kaadi ya ATM, enjaga ne ‘list’ y’abantu egambibwa nti baaferebwa.

Okusinzira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, abakwate baludde nga bakubira abantu amassimu, okubafera ensimbi n’ebintu ebirala.

Owoyesigyire agamba nti abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Nansana ku misango egyenjawulo omuli okwenyigira mu kubba.

Mungeri y’emu nga tukyali e Nansana, Poliisi etandiise okunoonyereza ku misango gy’okutta Wilson Seruwo myaka 35 abadde omutuuze we Ganda.

Ekiro ekikeseza leero ku ssaawa nga 9, omulambo gwa Seruwo gusangiddwa mu makati g’ekkubo okumpi ne bbaala n’ekifo ekitunda ennyama y’embizzi mu kitundu.

Okunoonyereza kulaga nti Seruwo yattiddwa era omulambo gwe, gusangiddwa nga guliko ebiwundu.

ASP Luke Owoyesigyire, agamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Owoyesigyire agamba nti wadde omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro e Mulago, okunoonyereza okuzuula abatemu kuli mu ggiya nnene.

Ate mu bitundu bye Kyotera, abakuuma ddembe ezudde omuntu agambibwa okwenyigira mu kutta Nanyonga Specioza, abadde omutuuze we Kyasimbi mu disitulikiti y’e Kyotera.

Ku Bethlehem Police Post, abakuuma ddembe esobodde okweyambisa embwa ezikonga olusu era mu kutambula mayiro emu (1), Poliisi yazudde eggaali, omutemu gye yasobodde okweyambisa oluvanyuma lw’okutta Nanyonga.

Embwa oluvanyuma yatambudde okutuuka mu maka ga Dominic Kato era mu kwekebejja enju, Poliisi yazudde akaveera akeeru nga kaliko omusaayi.

Mu kiseera kino Kato aliira ku nsiko era Poliisi egamba nti eri mu kunoonya Kato ku misango gy’okutta omuntu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gr2pGlbDBFk&t=2s