Waliwo abakyala n’abawala mu ggwanga erya Kenya, abagamba nti basobezeddwako ssaako n’okufuna embutto wakati mu kunoonya amazzi.

Kenya mu kibuga Nairobi, amazzi gafuuse otuzzi olwa payipu ezirina okutambuza amazzi, okaddiwa nga balina okuteekamu empya, ekyongedde okubuza amazzi mu bitundu bya Nairobi eby’enjawulo.

Wabula abakyala bagamba nti olw’okunoonya amazzi nga tegalabika omuli n’okusiimba layini ku nzizi n’okusingira ddala obudde obw’ekiro, kiwadde omukisa abasajja okubasobyako ssaako n’abaana abawala okufuna embutto.

Abawala abasukka mu 10, bagamba nti bakooye embeera mbi era ku Poliisi, basabye Poliisi okuyamba okunoonya abasajja abenyigidde mu kubasobyako.
Poliisi egamba nti efunye emisango egy’enjawulo era waliwo abakwattiddwa newankubadde n’okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.

Kane Tanaka afudde

Ate omuntu abadde asinga obukadde mu nsi yonna afudde.
Kane Tanaka afiiridde ku myaka 119 mu ggwanga lya Janpan, okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, abakozi n’embeera z’abantu.
Tanaka yazaalibwa mu January 2, 1903 era yafudde mu April, 19, 2022.
Okusinzira ku Guinness World Records, Tanaka yayingira mu byafaayo by’ensi yonna ng’omuntu asinga obukadde mu January 2019 ku myaka 116 n’ennaku 28.
Famire egamba nti Tanaka abadde mulwadde okumala ebbanga nga tava mu ddwaaliro okutuusa bwe yafudde.
Wadde yazaalibwa mu 1903, Tanaka yafumbirwa eri omusuubuzi w’omuceere ku myaka 19 era yakola mu sitoowa y’omuceere mu 103.
Tanaka asimatuuse endwadde ez’enjawulo omuli Kansa, Covid-19 ssaako n’endwadde endala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=iqYcJeYUKFY