Maama wa Mohammed Ssegirinya, omubaka we Kawempe North, azzeemu okuwanjagira mukyala munne era sipiika wa Palamenti Anita Annet Among, okutwala ensonga ze eri ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okusonyiwa mutabani we, ayimbulwe.
Maama Justine Nakajumba agamba nti mutabani we, mulwadde nga yetaaga okufuna obujanjabi, okusinga okulinda okufiira mu kkomera.
Agamba nti Pulezidenti Museveni yaasigadde okutaasa mutabani we Ssegirinya okuyimbulwa kwe kusaba sipiika Among okutwala ensonga ye eri omukulembeze w’eggwanga.
Maama okusaba, kidiridde kkooti ku Buganda Road, okwongezaayo omusango gwa Ssegirinya, ogw’okukuma omuliro mu bantu okutuusa nga 12, omwezi ogujja Ogwokusatu, 2022.
Ssegirinya ali ku misango egyo ku bigambibwa nti, yategeeza nti singa omuntu yenna yenyigira mu kutta Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), ekinabaawo mu ggwanga Uganda, kigenda kubisaamu emirundi 40 kwebyo ebyali mu ggwanga erya Rwanda mu 1994 mu kitta bantu ekyaliyo.
Wadde Ssegirinya yegaana emisango era wadde ali ku limanda mu kkomera e Kigo gye yasindikibwa ku misango egy’enjawulo, omuli ekitta abantu ekyali e Masaka, omwafiira abasukka 20, wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, Gavumenti, yakaleeta mu kkooti omujjulizi omu Juliet Naiga myaka 40, munnamawulire ku UBC, okumulumiriza kw’abo abajjulizi ababiri (2) abasuubirwa.
Wabula enkya ya leero, famire ya Ssegirinya, balagiddwa okudda mu kkooti, nga 12, omwezi ogujja Ogwokutaano nga kivudde ku muwaabi wa Gavumenti obutabaawo.
Ate Ssaabaminisita Robinah Nabbanja asambaze ebigambo ebirudde nga biyitingana nti kamera z’oku nguudo, tezikyakola nga y’emu ku nsonga lwaki abazigu, beyongedde okutigomya abantu, omuli n’okubatematema ejjambiya.
Mu Palamenti akawungeezi ka leero, ebadde akubirizibwa amyuka sipiika Thomas Tayebwa, omubaka we Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu, agambye nti baludde nga bafuna amawulire okuva mu basirikale mu kitongole ekya Poliisi nti, Kamera tezikyakola, ziriwo nga kigumaaza, ekiwadde abatemu ebeetu n’abazzi b’emisango, okutambula nga tewali kutya kwonna.
Mu kwanukula, Ssaabaminisita Nabbanja, agamba nti kamera zikola bulungi ddala era y’emu ku nsonga lwaki Poliisi, yasobola okuzeyambisa, okuzuula abazigu, abaali bakoze obulumbaganyi ku Minisita w’ebyemirimu n’enguudo, Gen. Katumba Wamala omwaka oguwedde ogwa 2021, ekyembi ne batta muwala we ne ddereeva we.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=45v4PLqcdeI