Palamenti egobye eky’okuyisa ssente biriyoni 30 mu bajeti y’omwaka ogujja ogwa 2022 – 2023, ez’okuyamba abayimbi okuteeka situdiyo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okuyambako mu kuyimusa ebitone.

Ekibiina ekigatta bannabitone ekya Uganda National Cultural Centre nga kiyita mu Minitule y’ekikula ky’abantu kyasaba ssente, okutekateeka situdiyo ez’omulembe.

Wabula ssentebe w’akakiiko ka Palamenti ak’ekikula ky’abantu Flavia Rwabuhoro Kabahenda, bw’alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akekeneenya bajeti y’eggwanga, agamba nti obutakaanya bukyali bungi mu bayimbi ne bannabitone abalala, nga kiba kizibu, okubakwasa ensimbi.

Agamba nti waliwo abayimbi, abakyalina okwemulugunya ku ngeri ssente ezo, biriyoni 30, gye zigenda okwatibwamu ku by’okuzimba situdiyo, nga y’emu ku nsonga lwaki akakiiko bakaanyiza okuyimiriza eky’okuwa bannabitone ssente mu bajeti ya 2022 – 2023.

Eddoboozi lya Kabahenda

Mu kakiiko, mubaddemu n’okwemulugunya ku ngeri ssente Biriyoni 7 n’obukadde 600 ezayisibwa Palamenti mu kiseera ky’omuggalo okuyambako mu kutekateeka ebivvulu ku mitimbagano omuli okweyambisa ttiivi, engeri gye zakwatibwamu.

Bagamba nti bangi ku bannabitone, tebaafuna ku nsimbi ezo nga balina okunoonyereza ku nsasaanya ya ssente zonna.

Geofrey Kayemba Ssolo

Ate omubaka we Bukomansimbi South Geofrey Kayemba Ssolo agamba nti Palamenti ekoze nsobi okulemesa bannabitone okufuna ssente.
Kayemba Ssolo nga ye maneja wa Rema Namakula mu kisaawe ky’okuyimba, agamba nti bannabitone betaaga ssente okutumbula talenti zaabwe.
Agamba nti singa bafuna ssente, balina SACCO ez’enjawulo, mwebasobola okuteeka ssente okwekulakulanya omuli abayimbi, bannakatemba, nga kiswaza Palamenti okuziremesa.

Doctor Hilderman

Ate omubaka we Mawokota North, Hillary Kiyaga amanyikiddwa nga Doctor Hilderman Mazongoto agamba nti Uganda erina talenti nga betaaga omukono gwa Gavumenti.
Doctor Hilderman agamba nti okuteeka kamera mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’ebyuma omuli kamera eziri ku mutindo gw’ensi yonna, kigenda kuyamba nnyo bannabitone okukwata vidiyo eziyinza okuvuganya mu nsi yonna.
Doctor Hilderman era alabudde nti Palamenti okugaana okuwa bannabitone ssente, kabonero akalaga nti Gavumenti tefaayo ku nsonga ya bitone.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=45v4PLqcdeI