Ekitongole kya Poliisi kisanyizaawo emmundu 378 ezigiddwa mu mikono emikyamu okuva mu bantu mu bitundu bye Karamoja, mambuka ga Uganda, Rwenzori ne Kampala ssaako n’ebitundu ebiriranyewo.

Omukolo gw’okusanyawo emmundu gubadde ku kyalo Panyangala mu Monicipaali y’e Kotido mu disitulikiti y’e Kotido era gukulembeddwamu amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Maj. Gen. Geoffrey Tumusiime Katsigazi.

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ssaako n’abasirikale ku mukolo gw’okusanyawo emmundu, Maj. Gen. Katsigazi yagambye nti balina okwegatta awamu okulwanyisa emmundu zonna eziri mu makubo amakyamu, okutangira eky’okutta abantu, okuzeyambisa okubba ebisolo n’okutataaganya eby’okwerinda mu ggwanga.

Agamba nti okuggya emmundu mu bantu, kigenda kuyamba nnyo ku nsonga y’ebyokwerinda, emirembe n’okutebenkeza eggwanga lyonna.

Mungeri y’emu agamba nti emmundu eziri mu mikono emikyamu, zeyambisibwa nnyo mu butemu, okubbi, ekibba ttaka, obutabanguko mu maka, obutujju, okubba ebisolo.

Maj. Gen. Katsigazi awanjagidde bannayuganda abalina emmundu mu mikono emikyamu okuziwaayo okusinga okulinda okubanoonya.

Maj. Gen. Katsigazi atenderezza ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi, UPDF, UPF-ASTU, okukola ennyo, okulwanyiza emmundu eziri mu mikono emikyamu.

Ate Poliisi mu Kampala ekutte abantu bataano (5) ku misango gy’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Abakwate kuliko Kintuze Ronald, Yiiga Vicent, Waswa Brian, Mugalya Moses ne Kasozi Peter.

Luke


Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate benyigira mu kufera Mbabazi Asilat, obukadde obusukka 50 nga yali asuubiziddwa ettaka mu bitundu bye Nakasajja Dundu mu disitulikiti y’e Mukono.
Omukyala yagibwako ssente nga 14, Ogwokuna, 2022.
Owoyesigyire agamba nti wadde abakwate bali mu mikono gyabwe, okunoonya bonna abali mu kikolwa ekyo, kugenda mu maaso.