Omusajja akubye mukyala we emiggo, bw’amukutte lubona ng’asinda omukwano n’omusajja omulala agambibwa okuba omuvuzi wa Takisi.
Omusajja ono ali mu myaka 45 agamba nti mukyala we asukkiridde obwenzi nga guno gubadde mulundi gwa kubiri okumukwata ng’ali n’omusajja omulala.
Omukyala asangiddwa lubona n’omusajja mu kazigo kaabwe era kigambibwa waliwo neyiba eyakubidde omusajja essimu ng’omukyala n’omusajja bayingidde okwesa empiki.

Omusajja ng’akuba omukyala emiggo

Omusiguze owa Takisi oluvanyuma lw’okutegeera nti omusajja akomyewo, yadduse amangu ddala ng’omukyala aguddewo oluggi, okusobola okutaasa obulamu kuba omusajja yabadde akutte omuggo.

Obusungu, omusajja yabumalidde ku mukyala we era yakubiddwa emiggo, empi n’ensambaggere okutuusa abatuuze okuvaayo okutaasa ng’omukyala ali mu mbeera mbi.

Omukyala agamba nti bba okuba omunafu mu nsonga z’omu kisenge nga yekwasa endwadde y’omugongo, y’emu ku nsonga lwaki ye ng’omukyala, anoonya omusajja ayinza okumuwa ku ssanyu ly’omu kisenge.

Ate omusajja agamba nti akooye omukyala okwendera mu bufumbo era agamba nti akooye ejjoogo ly’omukyala ng’alina okugenda wadde balina abaana basatu (3).

Ate abatuuze bagamba nti wadde omukyala agamba nti bba abadde asukkiridde obunafu mu nsonga z’omu kisenge, n’omukyala alina okweddako kuba naye asukkiridde ejjoogo okuleeta abasajja mu nju ya bba.

Obwenzi!
Abatuuze bagamba nti aba Takisi basukkiridde okusigula abakyala era ekyewunyisa wadde omusiguze muvuzi wa Takisi ne bba, naye abadde avuga Takisi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=evTLripi3fc