Ekitongole ekiri ku ddimu ly’okulwanyisa okukusibwa kw’abantu, bakyalinze alipoota okuva mu minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, ku kyavuddeko omuwala munnayuganda okwetta mu kibuga Dubai mu ggwanga lya United Arab Emirates.
Monic Karungi myaka 24, nga’sibuka mu disitulikiti y’e Isingiro, yabuuse okuva ku kizimbe ekya kalina waggulu era yafiiriddewo ku wikendi.
Okuva ku wikendi, vidiyo eraga engeri Karungi gye yesse, eyongedde okutambula ku mikutu migatta abantu omuli WhatsApp, Face Book n’emirala.

Wabula Agnes Igoye, amyuka ssentebe w’ekitongole ekirwanyisa eky’abantu okukusibwa, agamba nti okunoonyereza ku kyavuddeko Karungi okwetta, kwatandiise dda.
Igoye agamba nti Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, eyongedde amaanyi mu nsonga eyo, okuzuula ekituufu.
Igoye, asinzidde ku kitebe kya Poliisi e Naguru asabye famire y’omugenzi ne bannayuganda bonna okulinda alipoota, oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Wabula abamu ku bannayuganda abali mu kibuga Dubai, bagamba nti Karungi kiteeberezebwa nti yabadde alina ebizibu nga bingi nnyo era y’emu ku nsonga lwaki yesse.
Ate Poliisi eri mu kunoonya omusajja Katusiime John ku misango gy’okuviirako omuwala omuto ali mu gy’obukulu 17 okubba omwana wa nnaku 3, oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Katusiime aludde ng’ali mu laavu n’omuwala omuto, wabula omuwala yenyigidde mu kubba mwana munne olwa Katusiime, okubanja omwana we.
Okunoonyereza, kulaga nti Katusiime, yategeezebwa nti omuwala gw’abadde asobyako yafuna olubuto era nga wayise emyezi, omwana yategeeza Katusiime nti yali amuzaalidde omwana omuwala.
Wabula omuwala yakwattiddwa ku misango gy’okubba omwana mu ddwaaliro ekkulu e Masindi ku mukyala Sarah Nanjinga myaka 25, eyabadde yakalongoosebwa.
Okusinzira ku Poliisi, omwana yayingidde mu ddwaaliro ekkulu e Masindi, ku Ssande ku ssaawa nga 5 ez’okumakya, kwe kusaba nnyina w’omwana, okumukwatirako.

Wabula Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti okunoonyereza, omwana omuwala yakwattiddwa ng’ali n’omwana yekwese era yatwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Masindi.
Mu sitetimenti ku Poliisi, Enanga agamba nti omuwana omuwala azuuliddwa nga ye Asiduro Judith, era agamba nti yenyigidde mu kubba omwana olwa muganzi we, kafulu mu nsonga z’okusinda omukwano Katusiime, okubanja omwana we.
Omuwala agamba nti Katusiime, abadde amusindikira obuyambi era yenyigidde mu kubba omwana, okutaasa laavu yaabwe, n’okulaga nti ku lunnaku olwo, peneti yakwata mu katimba.
Enanga agamba nti Katusiime ali ku misango gy’okusobya ku muwala omuto era okunoonyereza kugenda mu maaso wadde aliira ku nsiko mu kiseera kino.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hO-ACYUIYk4