Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulaga nti ddala afaayo ku bba Dr. Hamzah Ssebunya.
Rema asobodde okuteeka ebifaananyi ku mukutu ogwa Instagram, ng’ali ne bba Dr. Hamzah n’omwana waabwe wakati mu ssanyu.

Famire mu ssanyu


Wabula endabika ya Hamzah, eyongedde okulaga nti ddala ali bulungi ne kabiite we Rema.
Mu Uganda, singa omusajja afuna olubuto, bangi balowooza nti alina ssente era bangi bafuna mangu ebbanja mu bbanka.

Dr. Hamzah naye afunye olubuto


Mu kiseera kino ne Dr. Hamzah naye kati afunye olubuto ng’akabonero akalaga nti afuna okulabirira okulungi okuva eri omukyala Rema.

Hamzah yali musajja mutono

Dr. Hamzah yali musajja mutono era okuva 2019, ayongedde okukyuka n’okulaga nti kati ssente weeri.

Hamzah nga talina lubuto