Omuyimbi munnansi wa Tanzania Rajab Abdul Kahali amanyikiddwa nga Harmonize akwattiddwa mu ggwanga erya Kenya era mu kiseera kino akuumibwa ku Poliisi y’e Kileleshwa.
Harmonize akwattiddwa ku bigambibwa nti yamenye amateeka ga Melamani Limited, emu ku Kkampuni eziteekateeka ebivvulu mu ggwanga erya Kenya.
Kigambibwa bwe yabadde mu ggwanga erya Kenya, yagaanye okuyimba ku bivvulu ebimu wadde yabadde asasuddwa, ekintu ekimenya amateeka.

Harmonize

Entekateeka ziraga nti Harmonize yabadde alina okuyimba mu kibangirizi kya Kenyatta International Convention Centre (KICC), Captains Lounge, Volume 001 ne Cocorico Club n’ebitundu ebirala ku Lwomukaaga nga 30, Ogwokuna, 2022.

Abategesi b’ekivvulu bagamba nti ku Captains Lounge, Harmonize yabadde alina okuyimba essaawa emu n’ekitundu wabula yayimbye eddakika 5 zokka nga ne ku Cocorico club, yayimbye era eddakika 5 zokka.
Akulira Cocorico club Joe Barsil, agamba nti oluvanyuma lw’okusasula ssente zaabwe Ksh.450,000, kyabadde kiswaza Harmonize okuyimba eddakika 5 zokka.

Eric Omondi

Wabula bakanyama ba Harmonize bagamba nti munnakatemba Eric Omondi yatutte ssente zonna era Harmonize talina musango gwonna.
Mu kiseera kino Eric Omondi ne Harmonize bonna bali ku Poliisi.

Ate omukulembeze w’eggwanga erya Kenya, Uhuru Kenyatta awanjagidde omumyuka we William Ruto okulekulira.

Kenyatta agamba nti Ruto alemeddwa okuyamba Gavumenti mu kutebenkeza ebyenfuna, ebiri mu kuyuuga mu kiseera kino wabula okweyambisa omukisa gwo, okusiiga Gavumenti enziro  ate mwali, nga ye ssaawa alekulire.

Obutakaanya bweyongedde wakati wa Kenyatta ne Ruto, mu kiseera nga bannansi, besuunga okulonda omukulembeze omuggya okudda mu bigere bya Kenyatta mu Gwokunaana, 2022.

Okuvuganya okwamaanyi kuli wakati wa Ruto ne Railo Odinga nga buli omu, agamba nti ye mutuufu okutwala eggwanga mu maaso newankubadde Kenyatta agamba nti Odinga, ye mutuufu agwanidde okudda mu bigere bye.

Okusinzira ku sseemateeka we Kenya, Pulezidenti talina buyinza obugoba omumyuka we wadde bafunye obutakaanya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZREM8cnrus4