Abantu 5 bafiiridde mu kabenje enkya ya leero ate abasukka 10 baddusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.
Akabenje, kabaddemu emmotoka satu (3) ne pikipiki emu (1) ku nsalo ya disitulikiti y’e Mbale ne Budaka ku lutindo lwe Namatala, ku luguudo lwe Mbale Tirinyi ku Mailo Taano mu ggoombolola y’e Nasenyi.
Emmotoka ezibadde mu kabenje kubaddeko takisi 2 okuli UBH 437K ne UBJ 676W ssaako ne Raum namba UAT 995A.

Okusinzira ku batuuze, akabenje kabaddewo ku ssaawa nga 12 ez’okumakya era kavudde ku Takisi ezibadde zidda mu Kampala okutomera bodaboda ebadde edda mu katawuni k’e Mbale, oluvanyuma ne bayingirira emmotoka ya Raum.
Wabula Kansala wa disitulikiti y’e Nasenyi Rosemary Baluka, awanjagidde abakulembeze okuvaayo okutaasa okulongoosa oluguudo, okendeza omuwendo gw’abantu abattibwa.
Emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale okwekebejjebwa ssaako n’abalwadde okufuna obujanjabi.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Immaculate Alaso agambye nti okunoonyereza ku kivuddeko akabenje, kutandikiddewo.
Mu ngeri y’emu abantu abatamanyiddwa muwendo, bafiiridde mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lwe Fort Portal-Kampala enkya ya leero nga n’abadusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi, omuwendo tegumanyiddwa mu kiseera kino.
Akabenje kabadde ku kyalo Sebitoli, kilo mita 15 okuva mu kibuga Fort Portal okumpi ne Kibaale National Park.

Omu ku batuuze ayogeddeko naffe agambye nti bbaasi ya Link namba UBA 0035S ebadde evudde mu Kampala okudda e Fort Portal, evudde ku kkubo neyefuula emirundi egiwera.
Mu kiseera kino ekivuddeko akabenje tekimanyiddwa wabula Poliisi y’oku nguudo etandiise okunoonyereza.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UF0dbuVyCps