Poliisi y’e Rukiga ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okulima enjaga mu ggoombolola y’e Rwamucucu mu disitulikiti y’e Rukiga.

Abakwate kuliko Moses Muhwezi ne Tukundane nga bonna batuuze be Rwempisi Cell mu muluka gwe Bulime mu ggoombolola y’e Rwamucucu.

Mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi y’e Rukiga, abasirikale bagamba nti baludde nga bafuna amawulire okuva mu batuuze nga Muhwezi ne Tukundane nti baludde nga benyigira mu kulima enjaga.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti abakwate basangiddwa n’emisiri gy’enjaga egisukka 30.

Maate agamba nti ekikwekweeto kyakulembeddwamu SP Ismat Patrick era abakwate bagenda kutwalibwa mu kkooti essaawa yonna.

Mungeri y’emu agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso, abatuuze bonna abenyigidde mu kulima enjaga, bakwatibwe.

Ate omukyala myaka 25 attiddwa mu bukambwe mu disitulikiti y’e Kakumiro.

Omugenzi Rosset Kabarod abadde mutuuze ku kyalo Rutooma B mu muluka gwe Rutooma mu ggoombolola y’e Nkoko.

Okusinzira ku batuuze, ekiro ku Lwokutaano omukyala yafunye obutakaanya ne bba Dan Aliyo myaka 27 nga kivudde ku nsonga etamanyiddwa.

Omusajja yakutte ekiso, kwe kutematema omukyala Kabarod ku mutwe mu ffeesi, ekifuba era yafiiriddewo ku ssaawa nga 5 ez’ekiro.

Nalice Turyakirya, ssentebe wa LC2 e Rutooma, agambye nti abatuuze webatuukidde okutaasa ng’omulambo gw’omukyala guli mu kitaba ky’omusaayi nga n’omusajja amaze okudduka.

Ate Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agambye nti omusajja aliira ku nsiko mu kiseera kino ate ekiso kizuuliddwa okuyambako mu kunoonyereza.

Hakiza era agamba nti omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro okwekebejjebwa nga n’okunoonya omusajja kuli mu ggina nnene.

Waliwo abatuuze abagamba nti omusajja abadde alumiriza omukyala nti alina abasajja abalala nga n’omukyala agamba nti bba asukkiridde obwenzi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kq6U6B3v7cs