Omusomesa w’okubala asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 15 lwa kusangibwa ng’ali kusinda mukwano n’omuyizi ali mu gy’obukulu 18 mu offiisi z’essomero.

Omusomesa ono Ernest Ocloo abadde musomesa ku Sawla Senior High School mu ggwanga ery Ghana mu bitundu bya Savannah, yasindikiddwa mu kkomera.

Mu kkooti, oludda oluwaabi lugambye nti nga 10, November, 2019, omusomesa ono, yasangibwa ng’ali mu kwerigomba n’omuyizi nga bonna bali bute era okuzuulibwa, kyava ku maloboozi omwana omuwala ge yali asuddemu, okusuusuta omusomesa we, nti kafulu mu nsonga z’omukwano bwe yali asemberedde okutuuka mu bwengula.

Abalamuzi bonna 7, bakaanyiza okusingisa omusomesa emisango era bwatyo asindikiddwa mu kkomera.

Omuwala agamba nti ku lunnaku olwo, omusomesa yamuyita mu offiisi ye era yamusanga atudde mu ntebe ya sofa.

Ernest Ocloo asibiddwa emyaka 15

Omuwala agamba nti omusomesa yamuwa ‘Yoghurt’ namugaana, namusaba omukwano nagaana era bwe yali, agezaako okudduka, omusomesa yaggalawo oluggi namusuubiza okumutta singa akuba enduulu.

Omusomesa yamusika omukono era bwatyo yamutigatiga okutuusa bwe yamugyamu engoye zonna, kwe kumuteeka wansi ku sementi namusobyako nga tewali kweyambisa kapiira.

Wadde omusomesa yakwatibwa nga yenna akyawunya akaboozi, olw’amaanyi geyakozesa, omuwala bamuddusa mu ddwaaliro ng’alumwa mu lubuto nga n’ebitundu by’ekyama, bisanyaladde oludda.

Omuwala agamba nti olw’okunoonya obuyambi, y’emu ku nsonga lwaki yali alekanira waggulu wakati ng’omusomesa ali mu kikolwa.