Kyaddaki omuyimbi Rihanna azadde omwana we asoose ku bulamu oluvanyuma lw’okufuna omusajja nga naye muyimbi A$AP Rocky.
Rihanna yazaala omwana omulenzi nga 13, May, 2022 mu kibuga Los Angeles mu ggwanga lya America.
Ono ye mwana wa Rihanna ne A$AP Rocky asoose mu bulamu bwabwe era agava mu America, galaga nti A$AP Rocky y’omu ku bantu abasanyufu mu kiseera kino.

Kinnajjukirwa nti nga 8, May, 2022, Rihanna yali mu kibuga Los Angeles ku lunnaku lw’abakyala ne bba Rocky era baali bombi mu kulya ekyeggulo ku Giorgio Baldi.
Kigambibwa mu ddwaaliro Rihanna mwe yazaalidde, yabadde n’abantu abasukka mu 10 okumulabirira era amawulire galaga nti yazadde bulungi.

Oluvanyuma lwa Rihanna okuzaala, kigambibwa omusajja Rocky yakasasaanya ensimbi ezisukka mu kawumbi 1 okulaga mukyala we (Rihanna) omukwano n’okwaniriza omwana we asoose mu bulamu bwe.