Abasajja bayiise endusu mu ggiimu, kyana kiwala ekyamyuka bwe kiyingidde okukola dduyiro.
Mu nsi yonna, dduyiro ayambako nnyo mu kulwanyisa endwadde ez’enjawulo omuli ezikwata omutima, ensigo, okusala omugejjo n’okukuuma omubiri n’endwadde endala.

Ekyama mu ggiimu

Wabula okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli ogwa Instagram, waliwo omusajja alemeddwa okukola dduyiro oluvanyuma lw’ekyana ekyamyuka okuyingira mu ggiimu.
Ekyana kyatandikidde mu kweteekateeka okwambala obugoye wabula ng’abasajja bamutambulizaako amaaso.

Wabula ekyana nga kitandiise dduyiro abamu ku basajja balemeddwa okubaako kye bakola ng’amaaso gali ku kyana mu ngeri y’okusabbalaza buli musajja mu ggiimu.

Vidiyo!