Abantu babiri (2) bafiiridde mu kabenje k’emmotoka mu bitundu bye Kafu ate abalala babiri (2) batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

Akabenje kavudde ku mmotoka ekika kya Isuzu forward namba UAW 416E ebadde eva e Gulu okudda mu Kampala ng’ebadde etisse ensawo z’amanda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’ebiduuka mu ggwanga ASP Faridah Nampiima, emmotoka eyabise omupiira ekivuddeko akabenje, abantu 2 ne bafiirawo.

Abafunye ebisago batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kiryandongo okufuna obujanjabi ssaako n’emirambo mu ddwaaliro lye limu okwekebejjebwa.

Nampiima era agambye nti ebikwata ku mirambo tebimanyiddwa mu kiseera kino.

Nampiima mu ngeri y’emu agambye nti okunoonyereza ekivuddeko emipiira gy’emmotoka okweyongera okwabika, kutandikiddewo.

Ate abantu basatu (3) batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi, balumbiddwa abazigu abeebijambiya ku kyalo Bulenga – Kikaaya mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abazigu balumbye amaka 4 ne bbaala emanyikiddwa nga Happy Times Motel.

Kigambibwa abazigu balumbye nti bakutte ejjambiya, emitayimbwa n’emiggo era bakoonye endabirwamu z’enzigi, okuyingira munda.

Andrew Ssemombwe, omu ku batuuze abalumbiddwa mu kiro ekikeseza olwaleero, agambye nti abazigu baakubye endabirwamu emiggo, okutisatiisa aba famire, nga balemeddeko okuyingira.

Ate Dennis Ssekyole, Manejja we bbaala, agambye nti abazigu bazze nga beefudde bakasitoma kyokka oluvanyuma baggyeeyo ejjambiya okutematema abantu.

Mu bbaala, abazigu basookedde ku Jackie Amooti omu ku bakozi mu bbaala era mu kiseera kino ali mu ddwaaliro.

Abamu ku batuuze bagamba nti obunafu bw’ekitongole ekya Poliisi okulawuna obudde obw’ekiro, y’emu ku nsonga lwaki abazigu beyongedde okubatigomya buli kiro.

Oluvanyuma lw’obulumbaganyi, adduumira Poliisi mu Kampala North RPC Peter Nkulega n’omudduumizi wa Poliisi mu disitulikiti y’e Wakiso Tai Ramathan, baalambudde abatuuze era bagamba nti kati ye ssaawa okwongera amaanyi mu nsonga y’ebyokwerinda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bdG8ZOO8V5Y