Poliisi y’e Nakaseke eri mu kunoonya omukulu w’essomero lya Maranatha Primary School mu Tawuni Kanso y’e Kiwoko ku misango gy’okusobya ku muyizi wa P7.
Ramathan Ssenyondo myaka 50 yanoonyezebwa ku by’okusobya ku mwana myaka 15.
Omwana agamba nti nga 8, May, 2022, Ssenyondo yamuwa ebitabo okubizaayo mu offiisi kyokka yali yakayingira, Ssenyondo naye kwe kuyingira.
Omwana wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti Ssenyondo yamusuubiza okumutta singa akuba enduulu era bwatyo kwe kumusobyako.
Omwana bwe yabadde asindikiddwa okudda awaka okukima ‘School Fees’, abazadde kwe kutwala ensonga ku Poliisi y’e Kiwoko.
Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, agamba nti Poliisi yafunye omusango gw’omwana okusobezebwako nga 15, May, 2022, omwana kwe kusindikibwa mu ddwaaliro e Nakaseke okwekebejjebw abasawo.
Ssemwogerere agamba nti mu kiseera kino Ssenyondo aliira ku nsiko naye aguddwako omusango gw’okusobya ku mwana omuto.
Ate omubaka we Nakaseke Central mu Palamenti Allan Mayanja Ssebunya, agamba nti ebikolwa eby’okusobya ku baana abato byeyongedde, kwe kusaba Poliisi okunoonya abasajja bonna bakwatibwe.