Ebitongole ekikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye bikutte abantu 26, ku by’okufa kwa Maj. Joseph Mukalani mu loogi, abadde manejja w’ekitavu kya bannamaggye ekya Wazalendo ettabi lye Ntebe.

Maj Mukalani, yasangiddwa nga yafiiridde mu loogi emanyikiddwa nga Birunga lodge, e Kiwatule Nakawa.

Okunoonyereza kulaga nti Maj Mukalani, yapangisa loogi okumala ennaku 3, okuva akawungeezi k’olunnaku olwokubiri.

Wabula mu kiro ekyakeesa ku Lwokutaano nga 27, May, 2022, omu ku bakozi abalongoosa ekifo, yayise bakamaabe, olwa Maj Mukalani, okumuyita, aggulewo oluggi, nga tewali ayitaba.

Abakozi okumenya oluggi, ng’omulambo gwa Maj Mukalani guli mu kinaabiro.

Okunoonyereza era kulaga nti, omugenzi yageenda okusimbula mu offiisi Entebbe, ng’asayininze obukadde bwa ssente 24.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, engeri Maj Mukalani gyen yasangiddwamu, y’emu ku nsonga lwaki ekikwekweeto kyakoleddwa, 26 ne bakwatibwa, okuyambako mu kunoonyereza ku by’okutta omuntu.

Ate Poliisi mu kibuga kye Mbale ekutte omusawo ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 12, ali mu S1 ku Town Side High School.

Omusawo myaka 45 nga mutuuze ku kyalo Bujoloto mu kibuga Mbale, yakwattiddwa.

Okusinzira ku John Byamugisha, addumira Poliisi mambuka g’ekibuga Mbale, omusawo akwattiddwa, akolera ku St Andrews medical clinic e Bujoloto.

Omusawo akwattiddwa

Poliisi egamba nti omusawo akwattiddwa lubona ng’ali mu kusobya ku mwana, mu kasenge k’eddwaaliro.

Byamugisha agamba nti omwana yabadde mulwadde era yabadde akkiriziddwa essomero okugenda mu ddwaaliro okufuna obujanjabi, omusawo kwe kumusobyako.

Mu kiseera kino omusawo atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu kibuga Mbale era aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto.

Byamugisha asuubiza okutwala omusawo mu kkooti, amangu ddala nga bafundikidde okunoonyereza.

Ate abasomesa ku ssomero basabye Poliisi okwanguyiriza okunoonyereza kuba famire y’omwana n’omwana betaaga obwenkanya.

Wabula abamu ku batuuze, bagamba nti baludde nga bafuna amawulire nti ku ddwaaliro lya St Andrews medical clinic, abasawo baludde nga basobya ku balwadde abakyala.

Wiiki eno, Poliisi mu bitundu bye Elgon efunye emisango 5 egy’okusobya ku baana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6rZWeQxPNRs&t=78s