Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero ekutte abakozi ba Victoria Sugar Limited 50 ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo ne balumba ebyalo bibiri (2) ne bayonoona ebintu.
Abakwate bali ku misango gy’okulumba abatuuze abasukka 20 ku kyalo Ndibulungi ne Yandwe mu ggoombolola y’e Butuntumula ku Lwokutaano ekiro.
Mu kikwekweeto ekyakoleddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Poliisi yakutte 50 era mu kiseera kino bali ku kitebe kya Poliisi e Luweero.
Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, agamba nti akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano omukozi wa Victoria Sugar Limited ategerekeseeko erya Sunday n’omukyala, yapangisizza owa bodaboda Stephen Ssenkosi ku shs 3,000 okubatwala ku samba ly’ebikajjo ku kyalo Kaaya.
Ssemwogerere agamba nti nga batuuze ku kyalo Kaaya, owa bodaboda yaweereddwa ssente 10,000, kwe kuddiza Sunday 5,000 mu kifo kya 7,000, ekyavuddeko okusika omuguwa.
Wakati mu kusika omuguwa, owa bodaboda yakubye enduulu, nti Sunday n’omukyala bagezaako okubba pikipiki ye.
Abatuuze bazze okutaasa embeera, era amangu ddala Sunday yatwaliddwa mu katawuni k’e Ndibulungi ne bamukuba n’okumutemako engalo era Poliisi weyatuukidde okutaasa ng’ali mu mbeera mbi.
Sunday yatwaliddwa mu ddwaaliro lye Luweero okutaasa obulamu era amangu ddala Poliisi yakutte abantu 2 ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo.
Abalimi mu bikajjo bya Victoria Sugar Limited amangu ddala nga bafunye amawulire, baalumbye ebyalo ne batema emmere y’abatuuze, okwonoona amayumba ssaako n’amaduuka.
Wabula Ssemwogerere agamba nti mu kikwekweero okuzuula abalimi abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo, Poliisi 50 okuyambako mu kunoonyereza kwabwe.
Cossy Buule, ssentebe w’ekyalo Yandwe agamba nti ku kyalo kye, abatuuze 13 bebakoseddwa omuli n’okwonoona ebintu byabwe.
Ate ebitongole ekikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye bikutte abantu 26, ku by’okufa kwa Maj. Joseph Mukalani, abadde manejja w’ekitavu kya bannamaggye ekya Wazalendo ettabi lye Ntebe.
Maj Mukalani, yasangiddwa nga yafiiridde mu loogi emanyikiddwa nga Birunga lodge, e Kiwatule Nakawa.
Okunoonyereza kulaga nti Maj Mukalani, yapangisa loogi okumala ennaku 3, okuva akawungeezi k’olunnaku olwokubiri.
Wabula mu kiro ekyakeesa ku Lwokutaano nga 27, May, 2022, omu ku bakozi abalongoosa ekifo, yayise bakamaabe, olwa Maj Mukalani, okumuyita, aggulewo oluggi, nga tewali ayitaba.
Abakozi okumenya oluggi, ng’omulambo gwa Maj Mukalani guli mu kinaabiro.
Okunoonyereza era kulaga nti, omugenzi yageenda okusimbula mu offiisi Entebbe, ng’asayininze obukadde bwa ssente 24.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, engeri Maj Mukalani gyen yasangiddwamu, y’emu ku nsonga lwaki ekikwekweeto kyakoleddwa, 26 ne bakwatibwa, okuyambako mu kunoonyereza ku by’okutta omuntu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eJwUcEMxabg