Poliisi mu kibuga kye Mbale ekutte omusawo ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 12, ali mu S1 ku Town Side High School.

Omusawo myaka 45 nga mutuuze ku kyalo Bujoloto mu kibuga Mbale, yakwattiddwa.

Okusinzira ku John Byamugisha, addumira Poliisi mambuka g’ekibuga Mbale, omusawo akwattiddwa, akolera ku St Andrews medical clinic e Bujoloto.

Omusawo akwattiddwa

Poliisi egamba nti omusawo akwattiddwa lubona ng’ali mu kusobya ku mwana, mu kasenge k’eddwaaliro.

Byamugisha agamba nti omwana yabadde mulwadde era yabadde akkiriziddwa essomero okugenda mu ddwaaliro okufuna obujanjabi, omusawo kwe kumusobyako.

Mu kiseera kino omusawo atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu kibuga Mbale era aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto.

Byamugisha asuubiza okutwala omusawo mu kkooti, amangu ddala nga bafundikidde okunoonyereza.

Ate abasomesa ku ssomero basabye Poliisi okwanguyiriza okunoonyereza kuba famire y’omwana n’omwana betaaga obwenkanya.

Wabula abamu ku batuuze, bagamba nti baludde nga bafuna amawulire nti ku ddwaaliro lya St Andrews medical clinic, abasawo baludde nga basobya ku balwadde abakyala.

Wiiki eno, Poliisi mu bitundu bye Elgon efunye emisango 5 egy’okusobya ku baana.