Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulaga nti ddala mukyala alina talenti era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda, y’omu ku bayimbi abakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.
Rema oluvanyuma lw’okufuna omusajja Dr. Hamzah Ssebunya, y’omu kati ku bakyala abasanyufu.

Mu kiseera kino alina abaana babiri (2) mu basajja babiri (2), Dr. Hamzah n’omuyimbi Eddy Kenzo, gwe yasooka okuzaalira omwana.
Rema okulaga nti ddala mukyala ategeera n’okuzina wadde mukyala muyimbi, akoze vidiyo ng’akuba dansi.
Mu vidiyo, Rema alaze sikiiru ez’enjawulo nga buli kigambo ategeera engeri y’okunyeenya ekiwato,”kyusa kyusa, nyenya nyenya, kkoona kkoona”.
VIDIYO!