Poliisi ekutte Okello Fred myaka 34 era atwaliddwa ku Poliisi y’e Walukuba mu kibuga kye Jinja, okulinda essaawa yonna okutwalibwa mu kkooti y’amaggye.
Okello akwattiddwa ku kyalo Walukuba – Masese ng’ali mu kyambalo ky’amaggye ng’abadde yeeyita omujaasi ku ddaala lya Brigadier General.
Kigambibwa yali avudde mu bitundu bye Elegu nga 30, May, 2022 okuggya mu bitundu bye Jinja, okulya obulamu.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti mu kwekebejja ensawo ya Okello, mwasangiddwamu akambe.
Mubi agamba nti Okello kati ali mu mikono gyabwe, okuyambako mu kunoonyereza kuba kiteeberezebwa ayinza okuba omu ku babbi, abaludde nga benyigira mu kutigomya abatuuze.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.