Kkooti mu ggwanga erya America eragidde omukyala okuweebwa obukadde  4.1 eza dollar olw’okusiigibwa obulwadde bw’ekikaba bwe yali ali mu kwerigomba ne muganzi we mu mmotoka ekika kya Hyundai mu Gwokubiri omwaka oguwedde ogwa 2021.

Omukyala nga yeeyita M.O yatwala kkampuni ya yinsuwa (Insurance) eya GEICO General Insurance Company mu kkooti era yasaba obukadde 4.1 eza dollar.

Mu kkooti, yagambye nti emmotoka mwe yasindira omukwano n’okufuna obulwadde yali mu ‘Insurance’ nga y’emu ku nsonga lwaki, yagitwala mu kkooti.

Omukyala ono, M.O era agamba nti muganzi we yakimanya nti mulwadde kyokka yalemwa okumutegezaako nga mu kwegadanga, yamugabula ebyalo, okumala eddakika 20, namusiiga obulwadde bw’ekikaba.

M.O, agamba nti kkampuni ya GEICO General Insurance, yagitwala mu kkooti olwa Kasitoma waabwe ate nga muganzi we, okumuganzika mu mmotoka yaabwe eri mu ‘Insurance’ yabwe.

Abalamuzi bonna basatu (3) mu ssaaza lye Mizori (Missouri) bakaanyiza n’ensonga z’omukyala M.O kwe kulagira Kkampuni ya GEICO General Insurance Company, okumusasula obukadde 4.1 eza dollar.

Yamusiiga obuwuka obuyinza okuvaako omukyala yenna okulwala Kkansa w’omumwa gwa nnabaana singa alwawo okufuna obujanjabi.