Omuyimbi Pia Pounds akunamidde ente bw’abadde akwata vidiyo y’oluyimba lwe Slay Farmer.
Ng’omuyimbi omulala yenna, ne Pia Paunds yakoze ebintu ebyenjawulo ebikwata ku by’obulimi okuggyayo amakulu g’oluyimba lwe ‘Slay Farmer’.
Bwe yabadde ku National Animal Genetic Resource Centre and Databank (NAGRC&DB) ng’akwata vidiyo y’oluyimba, yawadde ente essanyu.
Mu Uganda, Paunds y’omu ku bakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba era ku myaka 25, alina ennyimba ez’enjawulo omuli Tupaate, Wuuba, Kibeera kyo n’endala.
Akoze kolabo n’abayimbi abenjawulo omuli Fik Fameica, Eddy Kenzo n’abalala.