Mu Saudi Arabia abaana bakaaba…
Maama Hajarah Nakanwagi, awanjagidde ebitongole bya Gavumenti eby’enjawulo, ebikola ku nsonga z’abakozi, okuvaayo okumudduukirira okunoonya obwenkanya ku mwana we.
Nakanwagi, asangiddwa ng’ali mu maziga olwa muwala we Rashidah Nampijja myaka 21, eyali agenze ku bwa yaaya mu ggwanga erya Saudi Arabia, okumuzza ng’ali mu mbeera.
Nakanwagi ne muwala we Nampijja, basangiddwa nga bali mu kazigo akapangisibwa ku kyalo Nabuti cell mu ggoombolola y’e Mukono mu Monicipaali y’e Mukono.

Nampijja ku myaka 21, alina abaana babiri ( myaka 4 ne 2), agamba nti mu Desembe, 2021, aba Kampuni ya Horeb services limited, baamutwala okunoonya ssente wabula yategeezeddwa nti yafuna akabenje.
Wakati mu kulukusa amaziga, Nampijja agamba nti kyewunyisa okumusala ku mutwe, olubuto, nga tewali kiraga nti yafuna akabenje.
Maama Nakanwagi agamba nti vidiyo ya muwala we, yali etambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp ng’ali mu mbeera mbi, kwe kuddukira mu Kkampuni eyamutwala, okutaasa obulamu n’okusaba okumukomyawo.
Nakanwagi, awanjagidde buli muntu ayinza okumudduukirira, okutaasa obulamu bwa muwala we, naye omwana ali mu mbeera mbi.
Agamba nti ebiriwo, biraga nti Nampijja aliko kye baamukola nga ennaku zino, ayogera nga mukadde.
Maama Nakanwagi era agamba nti amangu ddala nga muwala we atuuse ku kisaawe e Ntebbe, aba Kampuni bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okwekebejjebwa.
Alipoota y’eddwaaliro eraga nti ensigo ze (Nampijja) zikyalimu wadde nga ye maama Nakanwagi agamba nti alipoota tagirabangako.
Wabula essimu za Ezra Mugisha, ssenkulu wa Horeb services teziriiko, okwogera ku nsonga za Nampijja.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=D7x_F66r7WY