Kkooti ku Buganda Road egobye okusaba kwa Dr. Col Kizza Besigye ne Samuel Lubega Mukaaku era bonna baziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 1, omwezi ogujja Ogwomusanvu.
Besigye ne Mukaaku nga bali ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu, bakwattiddwa ku Lwokubiri, nga bakomyewo mu Kampala okuddamu okuzukusa bannayuganda okubanja Gavumenti okendeza ku bbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya.
Ku Lwokusatu, baasindikiddwa ku limanda wabula enkya ya leero, webasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Asuman Muhumuza agaanye okubayimbula.
Besigye ne Mukaaku nga bakulembeddwamu mannamateeka waabwe Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, bagambye nti bantu babuvunaanyizibwa, abagondera amateeka ate nga tewali musango gwonna gwali gubasiinze.
Besigye aleese abantu 2 okuli amyuka omuloodi wa Kampala Doreen Nyanjura n’omubaka omukyala owe Kitgum Denis Onekalit ate Mukaaku aleese eyali yesimbyewo ku ky’omubaka omukyala e Mbale Margaret Wokuri Madanda ne Sulaiman Kidandala eyali amyuka omuloodi wa Kampala.
Lukwago era abadde asabye, Besigye ne Mukaaku, okuyimbulwa nga tebagiddwako wadde 100, nga bakulungudde ennaku nga tebakola nga mu sabiiti 2 eziyise Besigye abadde mu kkomera ku misango gye gimu n’okumusibira makaage, okumutangira okunoonya ssente.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze lusabye omulamuzi Muhumuza obutayimbula Besigye ne Mukaaku, nga bayinza okuddamu okwenyigira misango gye gimu.
Mungeri y’emu agambye nti abantu abaleeteddwa, balemeddwa okumatiza kkooti, singa Besigye ne Mukaaku, balemwa okudda mu kkooti, balina ssente ez’okusasula.
Omulamuzi akaanyiza n’oludda oluwaabi, Besigye ne Mukaaku nagaana okubayimbula nga tewali kiraga nti singa bayimbulwa, tewali kuddamu kwenyigira mu misango gye gimu.
Omulamuzi Muhumuza agamba nti nga 24, Ogwokutaano, 2022, Besigye bamukwata ku misango gye gimu egy’okukuma omuliro mu bantu ne baddamu ne bamukwata ku Lwokubiri nga 14, omwezi guno Ogwomukaaga, ekiraga nti musajja asukkiridde okuzimuula amateeka.
Omulamuzi alagidde Besigye ne Mukaaku okujjulira bwe kiba tebakaanyiza n’okusalawo kwe era bonna baziddwa ku limanda okutuusa nga 1, omwezi ogujja Ogwomusanvu.
Wabula munnamateeka Lukwago, agambye nti tewali kubusabuusa kwonna, bagenda kujjulira ku nsalawo y’omulamuzi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=D7x_F66r7WY&t=58s