Poliisi mu Nigeria ekutte akabinja k’abantu, abaludde nga bavuganya mu mpaka z’okusinda omukwano mu ssaza lye Ondo.
Abakwatiddwa basukka 20 nga bano, bagibwako ssente emitwalo 3 eze Nigeria, okuyingira n’okwetaba mu mpaka z’okwesa empiki.
Abakwate, abawala basukka 10 nga bali wakati w’emyaka 20 kwa 30 ate abasajja, nabo basukka mu 10 nga bali wakati w’emyaka 30 kwa 45.
Ekifo webasangiddwa, mu maaso waliyo ebbaala kyokka emanju w’ebbaala, buli muntu ayingira, alina okwetaba mu mpaka z’okusinda omukwano.
Abamu ku basajja abayingira nga tebalina bakyala, bawaayo ssente omutwalo 10,000 ogwa Nigeria, okufuna omukyala okuzannya okutuusa lw’okoowa.
Mu kikwekweeto, abasajja 8 basangiddwa nga bali bute n’abakyala abasukka mu 10, ate 6, basangiddwa nga bali kwesa mpiki mu ntebbe ku mmeeza nga n’abamu, bagudde mu ntebe batamidde ate nga waliwo abakooye, oluvanyuma lw’okusinda omukwano.
Kigambibwa, ekifo kyatandikibawo, abasajja n’abakyala abalina ennyonta y’omukwano, okufuna webayinza okusanga essanyu.