Kkooti ejjulirwamu olunnaku olwaleero lw’esuubira okuwa ensala yaayo ku nsonga z’omubaka we Kawempe North Muhammad Ssegirinya ne Makindye West Allan Ssewanyana.

Ssegirinya ne Ssewanyana, baddukira mu kkooti ejjulirwamu, nga bawakanya eky’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze okugaana okusaba kwabwe okweyimirirwa mbu bayinza okudduka mu ggwanga n’ okutaataganya okunoonyereza ku misango gye baliko omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa ebyekitujju, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.

Wabula nga bakulembeddemu bannamateeka omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim, baddukira mu kkooti ejjulirwamu nga bawakanya eky’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka okubagaana okubayimbula.

Abalamuzi ba kkooti, bateekawo olunnaku olwaleero, okuwa ensala yaabwe nga kisuubirwa nti Ssegirinya ne Ssewanyana, abakulungudde ku limanda ebbanga lya myezi 9, bagenda kusimbibwa mu kkooti ku nkola ya ‘zoom’ okuva ku limanda mu kkomera e Kigo.

Mungeri y’emu, n’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala awuliriza emisango gya bakalintalo Elithabeth Jane naye olunnaku olwaleero, lw’asuubira okuwa ensala ye kukusaba kwa Ssegirinya ne Ssewanyana.

Bano baddukira mu kkooti eyo, nga basaba omulamuzi okweyimirirwa.

Mu kkooti, bateekayo ensonga ez’enjawulo omuli betaaga okufuna obujanjabi nga n’engeri gye baddamu okwatibwamu nga bayimbuddwa kkooti enkulu e Masaka, kyali kimenya amateeka.

Omulamuzi Elithabeth Jane naye asuubirwa okuwa ensala ye ku nsonga eyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NYVnn5JTHMU