Kyaddaki kkooti ya Buganda Road eyimbudde Dr. Col Kizza Besigye ne Lubega Mukaaku, abakulungudde ennaku eziwerako nga bali ku limanda mu kkomera e Luzira.

Besigye eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) ne Mukaku bali ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.

Bonna baakwatibwa ku ntandikwa y’omwezi oguwedde Ogwomukaaga mu Kampala nga bazzeemu okuwakanya eky’ebbeeyi ebyongedde okulinya.

Wabula omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road Asuman Muhumuza, okugaana okubayimbula, nga tewali kiraga nti singa bayimbulwa, tebaddemu okwenyigira mu misango gye gimu olw’okuba, baali bakayimbulwa mu kkooti y’emu, era ku misango gye gimu nga givudde ku kikolwa kye kimu.

Olunnaku olw’eggulo, n’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Tadeo Asiimwe, yagaanye okubayimbula.

Omulamuzi Asiimwe yalagidde Besigye ne Mukaaku okuddayo eri  omulamuzi omukulu owa Kkooti ya Buganda road, oba eri omulamuzi Asuman Muhumuzi eyabasiba,  okuddamu okuteekayo okusaba kwabwe, okweyimirirwa.

Enkya ya leero, Besigye ne Mukaamu, webakomyewo okuwuliriza emisango gyabwe, omulamuzi Dr. Douglas Singiza, eyalondeddwa okubeera omulamuzi wa kkooti enkulu, akkiriza okusaba kwabwe ne bayimbulwa ku miriyoni 2.5 buli omu ez’obuliwo ne mitwalo 50 ezitali za buliwo, ku buli muntu abaleteddwa okubeeyimirira.

Mu kkooti, Besigye nga ssentebe w’ekisinde ki People’s Front for Transition aleese amyuka omuloodi wa Kampala Doreen Nyanjura n’omubaka wa Monicipaali y’e Kitgum Denis Onekalit ate Mukaaku, aleese amyuka ssaabawandiisi w’ekibiina ki FDC Harlod Kaija n’eyaliko omubaka wa Monicipaali y’e Rukungiri Roland Mugume.

Okuyimbulwa, Munnamateeka Samuel Muyizzi Mulindwa agamba nti abantu be, bakulungudde ku limanda sabiiti ezisukka mu 2 ate ng’emisango bakyateberezebwa, kwe kusaba omulamuzi okubayimbula nga tebagiddwako wadde 100.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze, lukanyiza n’abantu abaleteddwa kyokka lusimbidde ekkuli, eky’okuyimbulwa nga tebagiddwako wadde 100.

Omulamuzi, agambye nti afunye okumatizibwa nti Besigye ne Mukaaku tebayinza kudduka mu ggwanga kwe kubayimbula ku ssente miriyoni 2.5 buli omu ez’obuliwo.

Mungeri y’emu abalagidde okudda mu kkooti nga 29, omwezi guno Ogwomusanvu, 2022 mu maaso g’omulamuzi Asuman Muhumuza ku misango egibavunaanibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LshqPvwCdnk