Poliisi y’e Katwe eri mu kunoonyereza ku muntu eyattiddwa bwe yabadde agenze okubba mu zzooni ya Ngobe e Bunamwaya mu Monicipaali y’e Makindye Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okunoonyereza kulaga nti Nsamba Henry myaka 27, sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 30, omwezi oguwedde Ogwomukaaga ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, yasangibwa ng’ awalampye ekisakaate ky’omuyimbi Namukwaya Hajara Diana amanyikiddwa nga Spice Diana era yali agudde munda.

Kigambibwa, abakuumi  bamuggya munda ne bamuteeka ebweru era abatuuze bamuzingizza ne bamukuba emiggo, amayinja ssaako n’ensambaggere era Poliisi wetuukira okutaasa ng’ali mu mbeera mbi.

Abasirikale batwala Nsamba mu ddwaaliro ekkulu e Mulago era yafa bakamutuusa mu ddwaaliro.

Wabula, okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirwano Luke Owoyesigyire, abamu ku batuuze bagamba nti abakuumi ba Spice Daina, bebaakuba Nsamba ne bamuleka ng’ali mu mbeera mbi, ekyavuddeko okufa kwe.

Owoyesigyire ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo, okuzuula ekituufu newankubadde, tebanakwata muntu yenna.

Eddoboozi lya Luke

Bya Nalule Aminah