Omuwala ali mu myaka 28 awunze, oluvanyuma lw’okusanga bba ng’ali mu kaboozi ne nnyina.

Omuwala agamba nti bba abadde amwagala nnyo kyokka kyewunyisa okudda ku nyazaalawe okudda mu kusinda omukwano.

Amukutte mu kikolwa

Wakati mu kulukusa amaziga, omuwala agamba nti ye ne muganzi we balina omwana omu era aludde ng’afuna amawulire nti bba ne nyazaalawe, balina enkolagana ey’enjawulo.
Yasobodde okufuna abantu okubalondoola okutuusa lw’abakutte nga bali mu kikolwa.

Kigatto waffe ali mu kunoonyereza okuzuula ekitundu n’eggwanga kuba mu kiseera kino vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala ogwa Instagram.

https://www.instagram.com/p/CfYVihlDmxs/