Omukulu w’essomero lya Chuho Primary School mu disitulikiti y’e Kisoro asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 18 lwa kusobya ku muyizi we myaka 14.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Grace Ntege Nabagala, nga 28, Ogwokubiri, 2022, omukulu w’essomero Wilson Habiyakale, yasangibwa ng’ali ku muyizi ow’ekibiina eky’omukaaga (P6) ku ssomero ng’amusobyako.
Omukulu w’essomero olwamukwata, yakanuka amaaso n’okusika essaati okubika ebitundu by’ekyama ssaako n’okwogera, ebigambo ebitakwatagana nga yefudde abadde asomesa omwana akatabo.
Wabula Habiyakale bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe owa kkooti enkulu e Kabale, asibiddwa emyaka 18 olw’okukkiriza emisango.
Omulamuzi agambye nti omukulu w’essomero Habiyakale olw’ekitiibwa kye, yali ateekeddwa okuwa omwana obukuumi, nga kyewunyisa okudda ku mwana omuto okumusobyako.
Ku myaka 18, amusaliddeko emyezi 3 gy’akulungudde ku limanda nga mu kkomera, kati wakumalayo emyaka 17 n’emyezi 9.