Obunkenke bweyongedde mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi olwa bannansi, abasuubiza okudda ku nguudo okwekalakaasa nga kivudde ku bbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya.

Bannansi bagamba nti ebintu omuli Butto, akawunga, sukaali, omuceere, engano byongedde okulinya, ekyongedde okubanyigiriza.

Olunnaku olw’eggulo, waliwo abavuddeyo ne bekalakaasa era bagamba nti embeera singa tekyuka, okulonda kw’omukulembeze w’eggwanga lyabwe nga 9, omwezi ogujja Ogwomunaana, kulina okwongezebwawo.

Mu kwekalakaasa, bagamba nti abakulembeze, balemeddwa okuvaayo okutaasa ku mbeera y’ebintu ebyongedde okulinya nga tebasobola kwetaba mu kulonda nga tebalina kyakulya.

Abamu ku bannansi bagamba nti bakooye ekya Gavumenti okwekwasa olutalo wakati wa Russia-Ukraine olwatandika omwezi Ogwokubiri 2022, nga bagamba ebintu okulinya, bizze birinya okuva omwaka oguwedde ogwa 2021.

Banokoddeyo ekya Gavumenti okwewola ssente okutambuza eggwanga kyokka ssente nezibibwa abakulembeze ab’olubatu, ekyongedde okusajjula embeera.

Bannansi, bagamba nti bakooye ebisuubizo bya Raila Odinga ne William Ruto nga basabye omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta, okubaako kyakolawo.

Wabula omwogezi wa Gavumenti Cyrus Oguna, agamba nti ebintu okulinya, tekivudde ku bakulembeze obutafaayo wabula kivudde ku mbeera y’okulwanagana wakati Russia ne Ukraine.