Poliisi ezudde omulambo gwa Ronald Aharuhundira n’ogwa muganzi we Paulina Nalubega mu ggoombolola y’e Mugoye mu disitulikiti y’e Kalangala.
Aharuhundira ne Nalubega bonna babadde batuuze ku kyalo Bungo.
Poliisi etandiise okunoonyereza ku by’okufa kwa Aharuhundira ne Nalubega wabula kigambibwa kwaliwo ku Lwokutaano.
Wabula ssentebe w’ekyalo Gerald Bwegaba agamba nti kiteeberezebwa nti Aharuhundira myaka 28 yasse muganzi we Nalubega nga yamunyodde ensingo.
Kigambibwa Aharuhundira oluvanyuma lw’okutta Nalubega, y’emu ku nsonga lwaki naye yesse kuba yasangiddwa ng’ali mu ssaati ya Nalubega okuli ebigambo ‘I can’t live without you”.
Abamu ku batuuze bagamba nti Aharuhundira ne Nalubega baludde nga bali mu mbeera nnungi era basabye Poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu.