Supreme Mufti w’e Kibuli, Sheikh Muhammad Galabuzi akangudde ku ddoboozi olw’enneyisa y’abasiraamu ennaku zino.
Sheikh Galabuzi agamba nti wakati mu kunoonya ssente, abasiraamu bangi benyigidde mu bintu ebiswaza n’okuwebuula Abaddu ba Allah mu Uganda.
Agamba nti bwe yabadde mu kitundu ekimu, yagudde ku ffaamu y’embizzi kyokka yategeezeddwa nti ffaamu y’embizzi ya Sheikh, omu ku bantu abanene mun ggwanga wadde yagaanye okwatuukiriza erinnya lye.
Bwe yabadde ayogerako eri abasiraamu oluvanyuma lw’okusaala Edi Aduha olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Sheikh Galabuzi agamba nti kiswaza basiraamu okwenyigira mu bintu ebikontana n’Obusiraamu olw’okunoonya ssente.
Mungeri y’emu alabudde abantu abatwala embizzi mu kufa kw’abantu nga bafudde, okukomya okuzitwala mu maka g’abantu abasiraamu.
Agamba nti omuntu yenna singa addamu okutwala embizzi, bagenda kumukwata, bakooye ejjoogo.
Ate Poliisi ezudde omulambo gwa Ronald Aharuhundira n’ogwa muganzi we Paulina Nalubega mu ggoombolola y’e Mugoye mu disitulikiti y’e Kalangala.
Aharuhundira ne Nalubega bonna babadde batuuze ku kyalo Bungo.
Poliisi etandiise okunoonyereza ku by’okufa kwa Aharuhundira ne Nalubega wabula kigambibwa kwaliwo ku Lwokutaano.
Wabula ssentebe w’ekyalo Gerald Bwegaba agamba nti kiteeberezebwa nti Aharuhundira myaka 28 yasse muganzi we Nalubega nga yamunyodde ensingo.
Kigambibwa Aharuhundira oluvanyuma lw’okutta Nalubega, y’emu ku nsonga lwaki naye yesse kuba yasangiddwa ng’ali mu ssaati ya Nalubega okuli ebigambo ‘I can’t live without you”.
Abamu ku batuuze bagamba nti Aharuhundira ne Nalubega baludde nga bali mu mbeera nnungi era basabye Poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=WJZ5eWqgFsc