Omukyala Nnakulu w’ekitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA) Dorothy Kisaka, agumizza abatembeyi mu Kampala okusigala nga bagumu, mu kutambuza emirimu gyabwe nga tewali ntekateeka yonna ya kubasindikiriza Kampala.

Kisaka bw’abadde ku mukolo, gw’okutongoza Kampeyini y’okutumbula enkolagana wakati wa KCCA n’abatembeyi mu Kampala, agambye nti Pulaani ya ‘Smart City’, kwe kulaba nti bategeera omuwendo gw’abatembeyi abali mu Kampala.

Nankulu Kisaka

Mungeri y’emu agamba nti balina okutegeera buli mutembeyi kyatunda n’okumuteeka mu kifo wayinza, okutundira ebintu bye.

Omukyala Kisaka, kwe kusaba abatembeyi okuyambagana okulongoosa eby’ebusuubuzi mu Kampala wansi wa ‘Smart City’, okusinga okukirwanyisa.

Eddoboozi lya Kisaka

Kisakka era agambye nti gavumenti yakkiriza okubawa ssente, okunoonya ebifo, webayinza okutwala abatembeyi n’abasuubuzi, okutunda ebintu byabwe.

Abatembeyi mu kwaniriza Kisaka

Agamba nti mu kiseera kino, bali mu kunoonya ttaka era essaawa yonna abatembeyi, bagenda kufuna ekifo kyabwe.

Abatembeyi mu kusisinkana Nankulu w’ekibuga Kisakka wali ku ppaaka enkadde mu Kampala, bakkiriziddwa okusigala nga bakolera mu ppaaka era basuubiza okuwagira enkola ya ‘Smart City’.

Wabula abamu ku bakyala abatembeyi, balabudde abakwasa amateeka mu kitongole ki KCCA okukomya, okweyambisa amaanyi agasukkiridde.

Abakyala banokoddeyo eky’okubambula nga bakwatibwa, okubagyamu ensimbi, okubasiba wakati mu kutambuza emirimu gyabwe ssaako n’okuwebuula ekitiibwa kyabwe.

Abakyala banokoddeyo eky’omusajja amanyikiddwa nga Ibra omu ku bakozi ba KCCA nti asukkiridde okulaga obuyinza nga singa omutembeeyi yenna akwatibwa, balina okumugyamu ssente oba okumutwala mu kkooti.

Abatembeyi ku nkola ya Smart City

Mungeri y’emu bagamba nti ne bannamaggye abali mu Kampala, basukkiridde okubakwata okubagyamu ssente, kwe kusaba ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuyamba okuggya amaggye mu Kampala.

Eddoboozi ly’abakyala

Wadde Kisakka asobodde okulambika amakulu ga ‘Smart City’, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agamba nti engeri gy’ekwatiddwamu, bangi ku bannakampala batulugunyiziddwa, ebintu bitwaliddwa, ekyongedde okusajjula embeera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZSGdu9zCK7s&t=186s