Poliisi ewuniikiridde, omwana myaka 7 bw’alumiriza nnyina okumutwala okwenyigira mu kubba buli kiro.

Omwana, akatambi kabadde katambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp, nti y’omu ku babbi, abaludde nga batigomya abatuuze mu zzooni y’e Kibumbiro e Busega mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala.

Mu vidiyo, omwana agamba nti nnyina Namugerwa, abadde amuzuukusa buli kiro, namukwasa mikwano gye Ashraf ne Ramathan, okwenyigira mu kubba.

Wakati mu kulukusa amaziga, omwana agamba nti abadde yefuula anoonya obuyambi eri abatuuze, nga singa omutuuze yenna aggulawo, ababbi mikwano gye nga bayingira okubba ebintu eby’enjawulo.

Mu katambi, omwana agamba nti nnyina Namugerwa abadde amutwala wakati w’essaawa 7 ne 10 ez’ekiro nga bagenze okubba era kigambibwa akatambi, kakwatiddwa omutuuze Dumba Sunday ne mikwano gye nga bakooye akaana akabbi ku kyalo.

Omwana abyogedde

Poliisi eyogedde

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agamba nti Poliisi, etandiise okunoonyereza okuzuula ebyayogeddwa omwana.

Onyango era avumiridde eky’omutuuze, eyafulumiza akatambi, nti yakoze nsobi kuba omwana, ekyali muto nga yetaaga okuyambibwa mu kiseera kino.

Eddoboozi lya Onyango

Okubba eby’amasanyalaze!

Poliisi mu Kampala ekutte abantu 12, abaludde nga benyigira mu kubba amasanyalaze, okubba eby’amasanyalaze ssaako n’okutunda ebintu eby’amasanyalaze ebibbe.

9 ku bakwatiddwa okuli Stephen Ssekibizi, Peter Kabilango, Ronald Kakooza, Samuel Nsubuga, Joseph Katende, Rusifa Kagwa, Daniel Kimbugwe, Liz Nambozo ne Masitula Nantongo, bonna batuuze b’e Nzooba e Kawempe mu Kampala.

12 bakwatiddwa

Ate abalala okuli Denis Karamira, batuuze b’e Gganda B, e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Ekikwekweeto, kikoleddwa ekitongole kya UMEME nga begatiddwako ekitongole kya Poliisi n’amaggye mu Kampala n’emirirwano.

Okusinzira ku Claire Nabakka, amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, ebikwekweeto bikyagenda mu maaso era omuntu yenna singa akwatibwa ku misango gy’okwenyigira mu kubba eby’amasanyalaze, ayolekedde okuwa engasi ya Biriyoni emu oba okusibwa emyaka 15.

Nabakka agamba nti bakooye abantu okwenyigira mu kutigomya abatuuze era ebikwekweeto bikyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZSGdu9zCK7s