Omuyimbi aswadde…

Omu ku bayimbi b’oku kyalo Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso mu kaliyoki, akwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi n’omu ku basajja b’oku kyalo.

Omuyimbi ategerekeseeko erya Sandra ng’ali mu myaka 25, akigudde, abatuuze bamusaanze ali mu kwerigomba.

Mu kiro ekikeeseza olwaleero ku Lwokusatu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, Sandra abadde mu kaboozi ne muganzi we nga bw’aleekanira waggulu ekitabudde abatuuze.

Mu kaboozi, Sandra abadde akozesa ebigambo ebiwaana omusajja omuli “‘Oh daddy tereera”, ekitabudde abatuuze nga kiyinza okwonoona abaana abali ku mizigo.

Omu ku batuuze ategerekeseeko erya taata Sim, alabudde Sandra okukomya okuwogana kyokka bw’agaanye ne basamba oluggi.

Okuyingira mu nnyumba nga Sandra ali mu kaboozi anyumirwa tayagala kumanya, ekyongedde okutabula abatuuze.

Okusinzira ku taata Sim, omusajja abadde mu kaboozi ne Sandra mufumbo nga mutuuze we Ssanga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Olw’okutya, omusajja asobodde okwambala engoye ze era atambudde mpolampola okugenda wakati mu kuswala.

Ate Sandra atabukidde baneyiba okumuyingirira ate nga buli omu alina omuzigo gwe.

Abatuuze balemeddeko!

Abatuuze bagamba nti Sandra y’omu ku bawala abayimba obulungi mu kaliyoki mu kitundu kyabwe mu bbaala ez’enjawulo era bangi ku kitundu, bamutwala nga ssereebu.

Bagamba nti Sandra wadde muwala alabika bulungi, asukkiridde okuleeta abasajja ab’enjawulo mu nnyumba ate talina mpisa mu nsonga z’okusinda omukwano.

Balabudde nti ssinga teyeddako, bagenda kuleeta abakulembeze ku kyalo omuli ssentebe w’ekyalo, Sandra bamugobe mu nnyumba oba ku kyalo.

Sandra atabukidde abatuuze!

Sandra bw’abadde awayamu naffe nga yeesibidde mu muzigo, agambye nti ye muntu mukulu era tewali muntu yenna ayinza kumugobaganya.

Agamba nti waddembe okusinda omukwano n’omuntu yenna, kwe kulabula abatuuze okukomya okumuyingirira.

Ku by’okuwogana wakati mu kusinda omukwano, Sandra agamba nti buli muntu waddembe okukola ekimusanyusa.

Agamba nti okufuna abasajja ate nga balina ku ssente, y’emu ku nsonga lwaki abakyala ku kyalo bamulinako ensaalwa n’ennugu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=C-inl3iUDW4