Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, okunoonya abantu bonna abenyigidde okuddamu okutta bannayuganda bakwatibwe bakunyizibwe.
Museveni, agamba nti abatemu zagamba nti ‘mbizzi’, abenyigidde mu kutta ssentebe wa LC 111 Kamwokya James Kakooza ssaako n’omuyizi eyattiddwa ku Yunivasite e Makerere Bewatte Betungura, bonna balina okunoonyezebwa.
Pulezidenti Museveni akikaatirizza nti eby’okwerinda by’eggwanga biri gulugulu era bannayuganda balina eddembe ekweyagala n’okwetaayiza mu nsi yaabwe. Kwe kusaba kkooti okukomya okuwembejja abamenyi bamateeka nga batwaliddwa mu kkooti omuli n’okuyimbulwa.
Bw’abadde ayogerako eri eggwanga ng’asinzira mu State House e Nakasero, Museveni, abadde mukambwe ddala ku nsonga y’okutta abantu era agamba nti NRM erina obusoobozi okunoonya abantu bonna abakyamu.
Mu bigambo bye, anokoddeyo eky’abatujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF), abaludde nga benyigira mu kutta abantu okuva mu ggwanga erya Congo.
Agamba mu kiseera kino, aba ADF balina kuwanika oba bagenda kuttibwa bonna mu nsiko gye bali mu ggwanga lya Congo.
Ate ku nsonga y’ebbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya omuli amafuta, Pulezidenti Museveni alabudde bannayuganda okusoosowaza okukekereza mu mbeera yonna.
Museveni agamba nti ebintu okulinya kivudde ku mbeera mu nsi yonna omuli enkyukakyuka y’obudde, okulwanagana wakati wa Russia ne Ukraine ssaako n’akatale okweyongera okulinya ku bintu ebimu.
Agamba nti, “mukimanyi nti waliwo enjawulo wakati w’emiwendo gy’ebintu okubeera waggulu n’ebbula ly’ebintu. Kale, ku bino kiriwa ekisinga obulungi”, Museveni ku bbeeyi y’ebintu.
Mu Uganda, bangi ku bannansi baludde nga basaba Pulezidenti Museveni okuyamba okukendeza ku musolo ku bintu ebimu, okuyambako okukendeza ku bbeeyi y’ebintu wabula Pulezidenti Museveni agamba nti, “emisolo gigendereddwamu kukulaakulanya ggwanga omuli okuzimba enguudo empya ne pulojekiti endala nga omusolo ogusolozebwa bwegusalibwako ebintu bingi bijja kwesiba ekintu ekikyamu eri eggwanga”.
Ate ku nsonga y’okulwanyisa Covid-19, Pulezidenti Museveni agamba nti, “ntegeezeddwa nti bangi ku mmwe temuli basanyufu olw’okugema abazzukulu ab’emyaka 12-17 Covid -19. Obulwadde buno bukwata buli muntu omuli n’abaana”.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=C-inl3iUDW4&t=136s