Ebitongole ebikuuma ddembe nga bikulembeddemu ekitongole kya Poliisi birabudde ku mawulire agali mu kutambula ku mikuttu migatta abantu ku nsonga y’okwekalakaasa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, amawulire galaga nti waliwo abali mu kunga bannayuganda okwekalakaasa nga balina okusigala awaka ennaku 3 okuva olunnaku olw’enkya nga 25, July okutuusa ku Lwokusatu nga 27, July, 2022 nga bawakanya ebbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya.
Amaloboozi era galabula okutuusa obulabe ku muntu yenna anaasangibwa nga agezaako okugenda ku mulimu.
Oluvanyuma lw’ennaku 3 nga bali waka, bagamba nti balina okuggya ku nguudo okwekalakaasa okutuusa nga bagyeeko Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Enanga agamba nti wadde kituufu ebintu byongedde okulinya, kimenya amateeka omuntu yenna okweyambisa ebikolwa ebimenya amateeka.
Enanga ajjukiza abantu ekyaliwo mu February, 2021, abantu okulowooza okweyambisa okwekalakaasa omuli n’okusigala awaka, wabula byonna byagwa butaka.
Agamba nti ebintu birinye mu nsi ez’enjawulo omuli America, Bungereza era bannayuganda abalowooza nti ebintu birinye mu nsi yabwe yokka, balina okukyusa endowooza zaabwe.
Ku lwa Poliisi, Enanga agamba nti abantu balina okutambuza emirimu gyabwe, abaana okugenda ku ssomero era tewali muntu yenna alina kwenyigira mu bikolwa ebitabangula eggwanga.
Enanga era agamba nti okunoonya abantu abali mu kutambuza amawulire amakyamu okutabangula eggwanga, kugenda mu maaso.
Ate Poliisi ekutte Mercy Agudo, Asikaali mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Centurian Security Limited e Mukono ku misango gy’okubba ebintu by’abayizi ku Uganda Christian University.
Kigambibwa, Agudo yasangiddwa lubona omuyizi mu JK hostel gye yabadde asindikiddwa okukuuma ng’aliko ebintu byatwala.
Mu kwekebejja Agudo, yasangiddwa n’ebintu omuli engoye ssaako n’ebintu ebirala.
Ebiriwo biraga nti Agudo ne banne bakulungudde ebbanga wakati w’emyezi 2 – 3 nga tebafuna musaala era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki yenyigidde mu kubba engoye.
Eli Nkalubo, ssentebe w’ekyalo Agip Cell mu Divizoni y’e Mukono Central awanjagidde Gavumenti okunoonyereza ku Kkampuni yonna nga tebannaba kugiwa layisinsi nga kiswaza era kyabulabe omuntu alina emmundu, okubanja omusaala gwe kuba ayinza okwekyawa.
Ate Resident District Commissioner (RDC) mu disitulikiti y’e Mukono Fatumah Ndisaba asabye Kalisoliiso wa Gavumenti okuddamu okwekeneenya Kampuni ezirina layisinsi ku nsonga y’ebyokwerinda.
RDC Ndisaba agamba nti kiswaza Asikaali okwenyigira mu kubba ate ebintu by’abayizi nga kivudde ku mbeera mbi gy’alimu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4gKtzlieUhY