Ebitongole byokwerinda nga bikulembeddwamu ekitongole kya Poliisi bikedde kunyweza byakwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu Kampala okutangira embeera okusajjuka.

Okuva ku wikendi nga waliwo obutambi obutambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala ogwa WhatsApp nga bulagira bannayuganda okusigala awaka okumala ennaku 3 okuva leero nga 25, July – 27, July, 2022, nga beekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu ey’ekanamye.

Ekiri mu Kampala

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, bannayuganda balina okutambuza emirimu gyabwe n’abaana okusoma era tewali muntu yenna alina kutabangula ggwanga.
Enanga agamba nti ebintu okulinya kiri mu nsi yonna omuli ne Bungereza, America ssaako n’ensi endala nga bannayuganda bokka si bebakaaba.

Poliisi ereese Bakomando

Mu kiseera kino mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo Poliisi n’amaggye bali mu kulawuna okwekeneenya embeera n’okutangira omuntu yenna okutabangula ekibuga.

Abasuubuzi bakyali batono

Newankubadde Poliisi n’amaggye bakedde kunyweza byakwerinda, abasuubuzi bakyali batono ddala olw’okutya kwe balina nti ekibuga kiyinza okutabanguka.

Abasirikale bakedde kwetekateeka
Nga bali ku nguudo z’omu Kampala
Ekiri ku City Square mu Kampala