Abatemu abatamanyiddwa balumbye abasirikale nga bali ku luguudo lwe Kampala – Gulu ne batematema abasirikale ne batwala emmundu zaabwe.

Kigambibwa, ku misanvu gya Poliisi ku kyalo Kiwampa okumpi ne Tawuni Kanso y’e Luweero, kubaddeko abasirikale babiri (2) mu kiseera abatemu webalumbidde.

Omu ku batuuze Abisafu Kawuma, abaddewo nga bigenda mu maaso, agamba nti abasajja nga bali mu ngoye eza buligyo bazze nga bakutte ejjambiya era batandikiddewo okutematema abasirikale abasangiddwa nga bali ku mirimu gyabwe.

Kawuma agamba nti omu ku basirikale, asobodde okudduka okuyingira enimiro olw’okutaasa obulamu era amangu ddala omusirikale agyeemu Yunifoomu, naweebwa engoye z’abantu babuligyo, okwetangira abatemu okumulaba.

Abatemu, oluvanyuma lw’okutematema abasirikale, waliwo emmotoka ebadde epakinze ebbaali etambuza ebyamaguzi, bagikumyeko omuliro ne badduka ne bagenda.

Omusirikale addukidde mu nsiko, tusobodde okufuna eddobozi lye ng’ali mu kulajjana.

Omusirikale ng’asaba obuyambi

Poliisi n’amaggye webatuukidde nga bakulembeddwamu addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Living Twazagye nga kituufu, omusirikale amaze okufa.

Omulambo gukyali mu ddwaaliro ekkulu e Luweero nga Poliisi n’amaggye, batandiise okunoonya abatemu.