Omusajja omusuubuzi w’akasooli mu bitundu bye Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso ali mu maziga, bamalaaya bamubyeko ssente zonna ez’okusuubula.
Omusajja ategerekeseeko erya Ivan ali mu myaka 45, agamba nti akawungeezi olwa Ssande, yabadde yakafuna ssente okuva mu kasooli we mu bitundu by’omu Kisenyi mu Kampala, obukadde obusukka 50.
Ivan wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yafunye mikwano gye ne bagenda okulya obulamu mu bitundu bye Makindye mu bbaala.
Ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, waliwo abakyala babiri (2) abazze ku mmeeza yaabwe oluvanyuma lw’okutegeera nti alina ku ssente.
Lwaki ali mu maziga!
Ivan agamba nti ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, yakkiriza okutwala abakyala babiri (2) mu loogi okwesanyusa.
Agamba nti nga batuuse mu loogi, banywedde nnyo omwenge kyokka oluvanyuna ne badda mu kusinda omukwano okutuusa ku ssaawa nga 8 ez’ekiro.
Ivan era agamba nti olw’obukoowu, kigambibwa yaweereddwa kalifoomu mu by’okunywa kuba yeebase okutuusa ssaawa 4 ez’okumakya g’olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Wadde yabadde alina ssente obukadde obusukka 50, bamalaaya batutte ssente zonna, essimu ssaako n’engatto.
Asabye abatuuze!
Ivan wadde mutuuze we Matugga, agamba nti yafunye omuzigo mu bitundu bye Makindye, okusobola okulondoola bamalaaya abatutte ssente zonna.
Agamba nti bazzeeyo mu bbaala nga tebalina kkamera nga ne loogi temuli wabula ali mu kwebuuza ku batuuze oba bayinza okutegeera n’okujjukira abakyala, bamalaaya abaatutte ssente ze n’ebintu byonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=k6vT1QMASRo