Omulamuzi mu ggwanga erya Misiri alagidde omusajja eyakwatibwa ku misango gy’okutta muganzi we, okuttibwa kyokka balina okukikola nga ttiivi zonna mu ggwanga ziwereza butereevu, okuttibwa kwe.

Omusajja Mohamed Adel, 21, yatta muganzi we Naira Ashraf bwe yagaana okumufumbirwa era nga 6, omwezi guno Ogwomusanvu, omulamuzi yamusingisa emisango ssaako n’okulagira okuttibwa.

Omulamuzi awandikidde Palamenti y’eggwanga, bakole entekateeka okulaba nti Adel okuttibwa, Ttiivi zonna, zirina okulaga ebigenda mu maaso nga kikolebwa, okutangira abantu okuddamu okwenyigira mu bikolwa by’okutta abantu.

Adel ne muganzi we Naira kati omugenzi baali bayizi ku Mansoura University mu bitundu bye Nile Delta era omuwala, yali asemberedde okutuula ebigezo ebisembayo, okufundikira emisomo gye.

Wabula nga 20, Ogwomukaaga, Adel yakwata akambe kwe kulumba Naira okumpi ne Yunivasite, namufumita ku bulago, mu kifuba emirundi egiwera era omuwala yafiirawo.

Oluvanyuma lw’okutta omuwala, waliwo evidiyo ezakwatibwa ne zitambula ku mikutu migatta bantu, ekyavaako Adel okumunoonya nakwatibwa.

Kigambibwa, omuwala yali mu laavu ne Adel emyaka egisukka 2 wabula bwe yali asemberedde okufundikira emisomo, yafunayo omusajja omulala, ategeera ensonga z’omukwano nga ne ssente takyali wakusabira, ekyasinga okusajjula embeera. 

 Bangi ku bannansi bawagira eky’okutta Adel wabula abamu, bawakanya eky’okulaga butereevu ku Ttiivi ebigenda mu maaso ng’attibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=k6vT1QMASRo