Hamzah yatwala Rema!

Kyaddaki omuyimbi Edrisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo abotodde ekyama lwaki aluddewo okuwasa okufuna omukyala omulala, okudda mu bigere bya Rema Namakula.

Rema yafuna obutakaanya ne bba Kenzo okuva mu 2017 era mu 2018 embeera yeyongera okwonooneka.

Mu 2019, Rema mu butongole yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era nga 14 November 2019, omusajja yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Obulamu bwa Rema ne Kenzo!

Kenzo yali mu laavu ne Rema nga byankukutu okuva 2013. Mu 2014 Rema yafuna olubuto era bannayuganda baali batambuza ebigambo nga balowooza olubuto lwa muyimbi wa KadongoKamu Mathias Walukaga kati meeya wa Tawuni Kanso y’e Kyengera.

Wabula oluvanyuma lwa Rema okuzaala omwana mu December wa 2014 ku Paragon Hospital e Bugolobi, Kenzo yakkiriza nti omwana wa Rema yali mwana we era amangu ddala yaweebwa erinnya lya Aamaal Muzuuza.

Mu biseera ebyo, kigambibwa omuyimbi Walukaga yali alemeddeko okutwala omwana ku ndaga butonde, okuzuula taata w’omwana omutuufu.

Ate waliwo abagamba nti Kenzo okuwangula BET mu 2015, Rema yali alina okumuwa omwana wabula ekirungi, kyali kituufu nga ddala omwana yamuzaala.

Rema ng’ali mu bufumbo!

Mu kiseera nga Rema ali mu bufumbo, wadde mu kusooka baali balina essanyu, ebintu byakyuuka mpolampola.

Kenzo yagula amaka mu bitundu bye Seguku, okuweesa mukyala we Rema ekitiibwa.

Mu biseera ebyo, Kenzo yali w’amaanyi nnyo mu kisaawe ky’okuyimba mu Uganda n’ensi z’ebweru olw’ennyimba eze omuli ‘sitya Loss’ era yali awangalira nnyo mu nsi z’ebweru ng’alina okunoonya ssente.

Rema yafuna obutakaanya ne Kenzo era kigambibwa Kenzo kwe kusalawo okumusuula mu nnyumba. Mu biseera ebyo, kigambibwa Kenzo yali ali mu laavu n’abawala ab’enjawulo omuli n’omuyimbi Lydia Jazmine eyakuyimbira ennyimba omuli Ebintu byange, Olindaki, Masuuka, Omalawo n’endala.

Ate waliwo ebigambibwa nti Rema yali atandiise obwenzi era mbu y’emu ku nsonga lwaki mu bbanga ttono, yavaayo okulaga ensi nti alina omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era mu bbanga ttono ddala nga bali mu mikolo.

Kenzo lwaki naye aluddewo okufuna omukyala omulala!

Wadde Kenzo yali alina omwana ne Rema, mu kiseera kino Rema yaddamu dda okuzaala nga yakazaalira bba Dr. Hamzah omwana omu era obulamu alaga nti butambula bulungi nnyo.

Wabula Kenzo agamba nti yafuna okutya ku Rema bye yakola era y’emu ku nsonga lwaki aluddewo okufuna omukyala omulala.

Bw’abadde awayamu n’omusasi waffe Florah, Kenzo agambye nti, “ekinemesezza okuwasa amangu, natya, nayita mu nsonga etaali nyangu, kati nina okuddamu ntegeera abantu psychologically, it wasn’t something small, kyali kisobola okumalawo, I overcame something very big so I don’t need to rush. Naye nga nja kufuna omuntu kuba siri muntu muyaaye.”

Mungeri y’emu Kenzo agamba nti alina okufuna omuntu, atagenda kumuzza mu maziga.

Eddoboozi lya Kenzo

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1OIRLNzA3p0