Kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya bakalintalo ewuninkiridde, omu ku basibe Jackson Kanyike abakwatibwa mu kitta bantu ekyali e Masaka, bw’alumiriza abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okumutulugunya, ng’alina okuwayiriza Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana nti benyigira mu kutta abantu.

Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lino Anguzu baleese ekitundu ku bujjulizi obugenda okwesigamwako mu kutambuza omusango ogwo wabula basabye omulamuzi Jane Elizabeth okubongerayo akadde, okuleeta obujjulizi bwonna.

Omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 11, omwezi ogujja Ogwomunaana n’oludda oluwaabi, okuwaayo obujjulizi obusigadde obutasukka nga 8, omwezi ogujja Ogwomunaana, 2022 era abasibe, baziddwa ku limanda.

Abasibe bali musanvu (7) okuli Ssegirinya, Ssewanyana ne banaabwe bataano (5) okuli Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge era nga 4 ku 5 bagamba nti baabatulugunya ne bafuna endwadde.

Mu kkooti, oludda oluwaabi, basobodde okulaga nti balina obujjulizi omuli alipoota z’abasawo ku bantu abattibwa, engeri gye batibwamu, ebifo webasangibwa nga battibwa, alipoota eziraga abasibe engeri gye balimu era zawereddwa bannamateeka babasibe okuli Evans Ochieng, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim, Samuel Muyizzi Mulindwa, Geoffrey Turyamusiima ssaako ne Caleb Alaka.

Wabula omu ku basibe Kanyike, agamba nti bannamaggye b’ekitongole ki Chieftancy of Military Intelligence (CMI), bamutulugunya nti alina okuwayiriza Ssegirinya ne Ssewanyana okwenyigira mu kutta abantu e Masaka era byonna ebyamugibwako ng’obujjulizi, yabyogera wakati mu kutaasa obulamu naye nga byonna byabulimba.

Wabula mu kiseera kino obujjulizi bwabano tebuyinza ku kozesebwa kubanga kkooti ekyali mukweteekerateekera kutandika kuwulira musango guno.

Eddoboozi lya Kanyika

Munnamateeka Ssalongo Erias Lukwago ne Malende, bagamba nti ebiriwo, biraga nti obujjulizi tebuliwo, bali kupanga bupanzi.

Eddoboozi lya Lukwago

Ssewanyana nga ye mubaka we Makindye West ne Ssegirinya, Kawempe North bukya bakwatibwa, bakulungudde ku limanda mu kkomera e Kigo ebbanga erigenda mwaka omulamba.

Bano, bali ku misango egiwerako omuli obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’emisango emirala egyekuusa ku kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu N’ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PHzzX9hEdKY