Omuyimbi Tiwa Savage munnansi wa Nigeria atuuse mu Uganda, okukuba abantu emiziki enkya ku Lwokutaano nga 29, July, 2022 mu kisaawe kye Lugogo Cricket Oval.
Mu kiseera kino bangi ku bannayuganda balinze lunnaku lw’enkya, Savage okulaga nti ddala alina kiraasi mu kisaawe ky’okuyimba.

Tiwa Savage yazaalibwa nga 5, February, 1980 era mu kiseera kino alina emyaka 42 kyokka asobodde okusigala ng’avuganya mu kisaawe ky’okuyimba.
Ennyimba ezimufudde omukyala ow’enjawulo!

Savage alina ennyimba ez’enjawulo omuli No Wahala, All Over, Koroba, Ma Lo, Lova Lova, Eminado, Ello Baby, Dangerous Love, Get it Now, Without My Heart, Park Well, Attention, Let them know, All is in Order, Tiwa’s Vibe endala.
Mukyala wa Talenti!

Savage yazaalibwa mu ssaza Isale Eko mu Nigeria, ku myaka 11, yatwalibwa mu ggwanga lya Bungereza mu kibuga London okusoma secondary kyokka nga wayise emyaka 5, ku myaka 16, Savage yatandiika okuyimba ng’ayambako abayimbi omuli George Michael ne Mary J. Blige okufulumya ennyimba zaabwe ekimanyikiddwa nga backup vocals for artists. Wadde yasoma okutuusa okufuna diguli, Savage yasigala ali mu byakuyimba.
Mukyala muwanguzi!

Ng’omuyimbi omulala yenna Savage awangudde engule ez’enjawulo omuli Best African Act mu 2018 MTV Europe Music Awards nendala empitirivu.
Alina ennyimba mu Lungereza ne Yoruba olumu ku nnimi mu Nigeria era ayimba bulungi mu Afrobeats, R&B, pop ne hip-hop era mu Nigeria, y’omu ku bakyala abavuddeyo mu kulwanyisa endwadde omuli Kkansa, okuzimba amassomero, amalwaliro n’ebintu ebirala.
Alina amaka amatiribona!
Olwa Talenti, Savage asobodde okunoga ssente era asobodde okuzimba ennyumba ez’enjawulo omuli n’ezipangisibwa.

Emu ku nnyumba esangibwa mu Richmond Gate Estate mu bitundu bye Lekki mu kibuga Lagos mu Nigeria.
Ennyumba kuliko n’ekidiba ky’amazzi ekiwugirwamu.
Atuuse mu Uganda!
Savage atuuse mu Uganda akawungeezi ka leero okwetegekera olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano.

Atuuse wakati mu byokwerinda kuba ensonga y’ebyokwerinda, nkulu nnyo eri bannabitone.
Mu Africa, Savage wadde mukyala muzadde, y’omu ku bayimbi abasinga okuba n’abawagizi abasajja kuba bangi bamwegomba olw’endabika ye.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aAxysZ9mBwQ