Poliisi y’e Mubende ekutte abantu bataano (5), abagambibwa nti baludde nga benyigira mu kutigomya abatuuze.
Mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’amaggye, abakwate bagiddwa ku byalo okuli Kibaati, Kasana ward, East division, mu Monicipaali y’e Mubende mu disitulikiti y’e Mubende.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Racheal Kawala, abakwate amannya gasirikiddwa nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe.

Kawala agamba nti bazudde ebintu eby’enjawulo omuli ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba, emmundu enjigirire, ekyambalo ky’amaggye ssaako n’ebintu ebirala.
Abakwate baguddwako emisango omuli okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti, okusangibwa n’ebintu ebibbe ssaako n’okwenyigira mu kumenya amayumba.
Kawala agamba nti wadde 5 bakwatiddwa, okunoonya banaabwe kutandikiddewo, bonna okutwalibwa mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MBLbEoWC8LA