Kyaddaki Poliisi n’abakulembeze b’e Makindye, bavuddeyo ku nsonga z’omuyimbi Weasel Manizo okwenyigira mu kutimpula mukyala we Sandra Teta emiggo.

Okuva sabiiti ewedde, ebifaananyi ebiri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli WhatsApp, Face Book n’emirala, ebiraga omukyala Sandra Teta yakubibwa ng’ali mu mbeera mbi.

Waliwo ebigambibwa nti Weasel yamutimpula emiggo, bwe yadda awaka ng’atamidde, ate ng’alina okulabirira abaana.

Wabula wakati mu kunoonyereza okuzuula ekituufu, ssentebe wa zzooni ya Ssempa, e Kiwafu mu Divizoni y’e Makindye, Weasel mwasangibwa Nassuna Bukalaami, agamba nti tafunaanga alipoota yonna, ng’omukyala Sandra Teta, yemulugunya ku kya bba Weasel, okumutimpula emiggo.

Ssentebe Bukalaami  bw’abadde ayogerako naffe, agambye nti bukya Mowzey Radio afa nga 1, Ogwokubiri, 2018, Weasel, takkiriza muntu yenna wadde omukulembeze okuyingira mu makaage era eby’okukuba omukyala, bawulira biwulire.

Ate akulira Poliisi y’e Makindye Angaruraho Anxious, agamba nti abakozi ba Weasel abaasangibwa awaka, bamutegeeza nti omukyala Sandra Teta, yagwa mu babbi ne bamukuba emiggo era yadduka okutuuka awaka wakati mu kutaasa obulamu.

Angaruraho agamba nti oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti Sandra Teta yali akubiddwa ng’ali mu mbeera mbi, yageenda mu maka ga Weasel kyokka omukyala Teta ne Weasel tebaaliyo.

Agamba nti awaka, yasaangawo abantu basatu (3) okuli n’omukozi w’awaka, kwe kumutegeeza nti Sandra Teta yagwa mu babbi bwe yali,  ava ku mulimu ne batwala ebintu bye omuli amassimu, ssente era yadduka okutuuka awaka, mu ngeri y’okutaasa obulamu.

Mungeri y’emu asambaze ebigambo ebirudde nga bitambula mu bantu nti Poliisi yalya enguzi okuva eri Weasel, okutangira omuntu yenna, ayinza okuloopa Weasel ku Poliisi yonna mu kitundu kye Makindye.

Afande Angaruraho asabye Sandra Teta okugenda ku Poliisi ku nsonga za Weasel okumukuba kuba Poliisi eriwo kuwereza bantu bonna.

Ku nsonga y’okukuba abakyala, omuddumizi w’eggye ly’okutta era mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino, Lt.Gen.Muhoozi Kainerugaba naye avuddeyo era agambye nti kikolwa ekiraga obutitiizi bw’omusajja yenna.

Gen Muhoozi akowodde abasajja abalowooza nti balina amannyi, okutimpula abakyala, okuyingira amaggye, okubasomesa kye kitegeeza okulwana.

Ku mukutu ogwa Twitter, Let. Gen. Muhoozi agamba nti, “We as African men must learn that beating a woman is the worst form of cowardice! If as a man you feel you have too much energy, please  join the UPDF. We will teach you what fighting means!”.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1Z4BH5Z-0y8